TOP

Ssenga , omusajja mmuzaalire?

Added 21st October 2017

NJAGALA okufuna olubuto lwa baana bana naye omusajja yaηηamba mufumbo. Ssenga ηηende naye anaabalabirira?

OMUSAJJA ono akoze bulungi okukubuulira nti mufumbo. Kino kitegeeza nti omusajja ono akukozesa bukozesa.
 
Abasajja bangi abafumbo abalina baganzi baabwe ebweru era nga tebaagala mukyala kumanya.
 
Omusajja omufumbo bw’akwagala nga teyekweka, kitegeeza nti amaka gaafa dda.
 
Naye bw’akugamba nti mufumbo, kitegeeza nti akwendako bwenzi. Kati ono omusajja bw’omuzaalira omwana, manya nti oyinza omulabirira wekka.
 
Ekirala n’abasajja abafumbo abamu ennaku zino tebaagala kulabirira baana, era ofuna bufunyi mukisa n’ofuna alabirira abaana be.
 
Ekirala, endowooza eriwo ennaku zino zaala abaana naye manya nti olina okubalabirira kubanga kizibu okumanya oba omusajja anaalabirira abaana oba nedda.
 
Era nneebuuza, lwaki oyagala okuzaala abaana bana nga tomanyi ngeri yakubakuzaamu?
 
Ono mufumbo era ebiddirira bisobola obutabeera birungi kuba alina amaka n’abaana abalala.
 
Weetegereze embeera eno naye eyinza okukunyiga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Tumwesigye

Dokita aleppuka na gwa kuka...

OMUSAWO Wilson Tumwesigye 32, ono ng’akola gwa kukebera bakyala ba mbuto (Radiographer) mu ddwaaliro lya Kamwokya...

Abaana abaatomeddwa mmotoka nga batwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo. Mu katono bwe babadde bafaanana.

Makanika abadde agezesa mmo...

MAKANIKA olumaze okukanika emmotoka n’agivuga emisinde n’emulemerera okukkakkana nga yeefudde n’etomera abaana...

maka ga ba Shimanya. Mu katono, ye Shimanya ne Kakai gwe yasse

Ow'ebbuba asse mukazi we ng...

OMUSAWO w'eddwaaliro lya IHK yakomyewo ku ssaawa 5:00 ez’ekiro era yasanze bba yatabuse dda! Bba yayongedde okuva...

Pulezidenti  wa DP Nobert Mao ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

Ebizibu mu DP byeyongedde: ...

EBIZIBU byeyongedde mu DP, ekisanja kya Nobert Mao bwe kiweddeko wakati mu kuwakanyizibwa abamu ku bammemba okuli...

Erias Lukwago kisuubirwa ayinza okukwatira FDC enkasi singa Besigye tggyaayo mpapula kwewandiisa kuvuganya

Abaagala bendera ya FDC ku ...

ABA FDC bataddewo olwaleero n’enkya ku Lwokubiri nga nsalessale eri abaagala okukwatira ekibiina bendera ku kifo...