TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi bwe yeegatta ng'asudde eggi aba n'emikisa mingi okutuuka ku ntikko

Omukazi bwe yeegatta ng'asudde eggi aba n'emikisa mingi okutuuka ku ntikko

Added 25th October 2017

EDITH Mukisa omu ku baasomesezza mu musomo gwa SSenga ku Freedom City e Namasuba ku Lwomukaaga yalambise ku nsonga y’omukazi okutuuka ku ntikko bwati; “Buli mukyala yatondebwa ng’asobola okutuuka ku ntikko.

 Edith Mukisa ng’asomesa.

Edith Mukisa ng’asomesa.

Omukazi bw’atuuka mu myaka gy’obuvubuka atandika okufuna obwagazi era obukyala bwe butandika okufulumya amazzi g’ekyama okufaananako omusajja.

Era mu kiseera ekyo atandika okufuna embeera y’okwagala okubeera n’omusajja nga kino kimutuukako mu biseera nga waliwo ebintu ebitera okuteeka abantu abangi mu muudu y’omukwano okugeza ng’okulaba obutambi bw’ekiseegu n’oluusi kituukawo wadde akirowoozezzaako bulowooza.

Okusuula eggi y’embeera kw’omanyira nti olina obwagazi era weetaaga okwegatta.

Kino mu bisolo bakiyita kusala, n’owulira ng’omuntu agamba nti embuzi yange esaze olwo n’aginonyeza ennume.

Omukazi yenna bw’asuula eggi abeera asaze. Mu kiseera ekyo, omukazi aba awulira nga yeetaaga omusajja. Okutuuka mu embeera bwetyo kitegeeza oba osobola okutuuka ku ntikko.

Abakazi abasinga basuula eggi wakato w’ennaku 10 ne 14 okuva lwe bagenda mu nsonga z’ekikyala, naddala abo abalwalira mu nnaku 28.

Mu kiseera ekyo amazzi gaba mangi mu bukyala era omukazi aba n’ebbugumu lingi okusinziira ku nnaku endala. Ssinga omukazi yeegatta mu kiseera kino kyangu okufuna olubuto.

Omukyala alina obusimu 8000 Obusimu obwo bwe buba bukwatiddwako obulungi omukyala atuuka ku ntikko. Obusimu obwo obusinga buli mu kitundu ekiyitibwa “akakukufa okusibuka abalongo”.

Kati buvunaanyizibwa bwa musajja okunoonya obusimu obwo ng’abuggya mu katundu ako munne n’asobola okumalamu akagoba. Abaami abasinga ensobi gye bakola bafuba nnyo okugenda ewala ennyo eyo kyokka ekifo ky’omulamwa ne bakiyitako buyisi naye ng’ekituufu ku kakuukuufa we wali omulamwa era okugenda ewala oba tolina ky’okoze kya maanyi.

Y’ensonga lwaki abakyala abasinga abeerawo ebbanga lyonna nga tatuuseeko ku ntikko lwa nsonga ya mwami butamanya busimu webuli.

Amazzi g’ekyama mu bakyala Abakyala abamu bamanyi okwesomera ku basjja nga bwe balina amazzi amangi naye nga kye bakola bafuuyisa musulo.

Abaami buli lw’owulira olusu lw’omusulo nga muli mu kikolwa kimanye nti omukyala oyo akufeze afuuyisizza musulo.

Abasajja ba njawulo ku bakyala nti tebasobola kuleeta musulo nga bali mu kikolwa olw’ensonga nti baatondebwa ng’ekifo omusulo n’amazzi g’ekyama we gayita wali wamu.

Ku mukyala kya njawulo nti we bafuuyisiza omusulo ate si we wayita amazzi g’ekyama y’ensonga lwaki bangi banguyirwa okufuuyisa omusulo mu kikolwa abasajja abatabitegeera ne balowooza nti omukazi Nnamazzi.

Waliwo abakyala abalina ensulo ez’enjawulo ng’asobola okuleeta mu nsulo ez’enjawulo abo baba n’amazzi agawera naye era tegasobola kutuuka ku bungi bwa kuyita mu mufaliso ne gakulukuta.

Abakyala abamu tebamanyi mazzi abamu beewaana bwewaanyi. Enjawulo eri mu mazzi g’obutonde gefaanaanyirizaako eminyira mu ndabika era n’okunaanuuka.

Amazzi gano tegakulukuta era abakyala abamu abenyumya nga bwe bafulumya amazzi agatobya n’emifaliso abalala ne bafulumya agakulukuta ne gatuuka n’okuyita wansi w’oluggi ne gafuluma ago tegaliiyo abasinga bafuuyisa okuwuddiisa abasajja.

Okutuuka ku ntikko tekulina mitendera misengeke girina kugobererwa kubanga okwegatta tekulina mateeka gakufuga nti mulina kukola kino nakiri wabula kisinziira ku buli omu ky’ayagala n’enzikiriziganya yammwe.

Okwegatta buli lw’okuteekamu amateeka kuba kugaanye. Naye buli lw’okitwala nti kintu kya bulijjo ensonga etambula bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggal...

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala...

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Ensonga lwaki Sebaggala bam...

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...