TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja atakwata ku bbeere lya munne mu kitanda aba ssekibotte

Omusajja atakwata ku bbeere lya munne mu kitanda aba ssekibotte

Added 2nd November 2017

BANNASSAAYANSI Larry Young ne Brian Alexander bazudde nti abasajja banyumirwa nnyo okukwata, okunyogootola n’okutunulira amabeere g’abakazi.

Abaagalana nga bali mu mukwano

Abaagalana nga bali mu mukwano

Era mu kitabo kyabwe “The Chemistry Between Us: Love, Sex, and the Science of Attraction” bagamba nti omusajja aba n’omukazi mu buliri n’atamukwata ku bbeere aba ssekibotte nnyo.

Kino bakyesigamya ku kye baazudde nti abasajja kye bava baagala ennyo okukwata ku mabeere g’abakazi kwe kuba nti; bamanyi nti kino kireetera abakazi nabo obwagazi.

Kale nga bwe bagakwatako kiyingizaamu omukazi okwagala okwegatta n’akkiriza akaboozi.

Kubanga omulimu gw’okuyingiza mu mukazi obwagazi bw’akaboozi mu butonde gwaweebwa musajja.

Kale olw’okuba nti ate era amabeere galimu n’ebbugumu, abasajja bagettanira nnyo okugakwatako oba okugakwatamu.

Olw’okuba akaboozi kakolera nnyo mu mbeera nga waliwo akabugumu, kye bava oluusi bayitawo ne baganuuna n’okugayonka oluusi abamu ne batuuka n’okumaliramu babbebi amata. Era omusajja mu kunoonya akabugumu ako, kamusindika nnyo okwagala okwesogga nnabunnya w’omukazi.

Eno y’emu ku nsonga lwaki abasajja balemererwa eky’okuzannyira ku ngulu wa nnabunnya ne beesanga nga beefubitise munda eyo, sso ng’oluusi babbaabwe baba baagala basooke bazannyireko awo ku ngulu.

N’abo abakozesa sitayiro y’ak’e Mbarara, nabo emirundi mingi basookera ku sitayiro ya kwesonsekako mu nnabuunnya oba mu nkola eya minsonale, ne basooka bafuna ku bbugumu erimala, olwo ne balyoka ate bavaayo.

Abamu ku basajja amabeere bagatunulako butunuzi ne gabakuba. Era mwattu ate n’omukazi n’akitegeera nti omusajja akubiddwa.

Kale olw’okuba abakazi bamanyi ensonga eno, nabo kye bava bagaleega, oba okugambazaako ekitundu ne balekawo olwatika ggwe omusajja kw’oyinza okutunula n’otandika okukuba obufaananyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...