TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebitawaanya abavubuka ku bawala embeerera

Biibino ebitawaanya abavubuka ku bawala embeerera

Added 3rd November 2017

BULI muvubuka bwatuuka mu myaka egy’okufuna omwagalwa, afuba okulaba ng’afuna oyo atali muyaaye oba bwe bassa ekimu era ng’ebimu ku bintu kw’osobola okulabira omuwala atali muyaaye kwe kumusanga nga teyeegatangako na muntu yenna.

 Salima Nakitto; Nze muganda wange bw’aηηamba nti omuwala gwe yafunye mbeerera sikirinaako buzibu ne bye boogera mbiraba ng’omuntu by’osobola okukolako. Okugeza abamu batya endwadde naye nga kino bw’ataba siriimu, endwedde endala ziwona.

Salima Nakitto; Nze muganda wange bw’aηηamba nti omuwala gwe yafunye mbeerera sikirinaako buzibu ne bye boogera mbiraba ng’omuntu by’osobola okukolako. Okugeza abamu batya endwadde naye nga kino bw’ataba siriimu, endwedde endala ziwona.

Omuwala oyo aba ayitibwa embeerera mu lulimi olwangu era mu bantu abamu atwalibwa nga wa kitiibwa kyokka wadde kiri bwekityo, abamu naddala abavubuka ennaku zino bagamba nti tebaagala kwegatta na muwala nga gwe mulundi gwe ogusoose okwegatta olw’ensonga zino wamanga.

1 Tebasalawo oba okusalawo kwabwe kuba kwa kibogwe: Omuwala yenna ekimu ku bintu by’asobola okukola okwesalirawo ng’omuntu era buli kiseera aba wa jjuuzi ate nga bangi tebakyalina budde bwebyo bwatyo n’asalawo okwesonyiwa omuwala embeerera.

2 Omuwala oyo atwalibwa ng’alina emitendeera gye yabuuka: Mu buvubuka wabaawo ebintu abawala bye bayitamu ng’omubiri gubanja era nga kya butonde g’okugeza ng’okuzannya obuzannyo bwa maama ne taata, okwagala ku balenzi ab’enjawulo naddala mu myaka gy’ekivubuka. Mu biseera bino kiba kitegeeza ku bamu nti omuwala w’alina okugyirako embuzi ye naye bw’ebaako aba yabuuka ebintu ng’ebyo era aba n’emikisa mingi okubikolera mu bufumbo ekitiisa abavubuka oba abasajja ne babalekawo.

3 Bazadde baabwe be babasalirawo: Abawala abamu ab’engeri eno, ekibaleetera okuba nga bakyali mbeerera ku myaka egyo, tebava bazadde baabwe ku lusegere era bafugibwa okukamala. Era ne bw’omuwasa ng’omutadde mu maka, omukadde amuzaala ajja kuba nga y’asalawo buli kimu omuwala ky’alina okukola.

4 Babeera n’olugezigezi: Ebiseera ebisinga omuwala okulwawo okufuna omulenzi gwe yeegatta naye, kiba kitegeeza oluma aba alina obukwakkulizo bungi bw’ateeka ku baba baagala okwegatta naye nga kino omuwala ateeberezebwa okuba n’olugezigezi era baba batya nti ayinza okulutwala ne mu bufumbo n’akumalako emirembe.

5 Baba bayiga mu nsonga z’ekisenge: Buli muvubuka awulira ng’ayagala afune omuwala amanyi obulungi ensonga z’omu kisenge. Kale abawala bano abakyali embeerera, baba tebamanyi nsonga zino ate n’abavubuka abamu tebaagala bya kusomesa era ekivaamu omuvubuka bw’amanya nti omuntu teyeegattangako ayinza okumuddukako.

6 Balumya abavubuka mu kwegatta. Omuwala bwaba teyeegattangako, aba n’akabubi ku bitundu bye ebyekyama, kale okukaggyako, kitwala obudde bungi ekitawaanya abavubuka. Ekirala omuwala ono aba akyali mufunda, era omuvubuka aba alina okukola ekkubo ekintu abavubuka kye bagamba nti kibalumya ne batuuka n’okunuubuka obusajja bwabwe. Kino kyongera n’emisa gyabwe okufuna endwadde ez’enjawulo.

7 Baba tebeeguya: Abawala abamu nga mbeerera bamanyi nti kibeera kya bbeeyi era bakozesa omukisa guno okujooga abasajja ababa babawasizza ekibaleetera okubakoowa.

8 Emikisa gy’okwendera mu bufumbo giba waggulu: Ssenga Olw’okuba omuwala ono ebintu aba abitandise bukulu, aba ayagala yeesasuze n’ebbanga lye yasubwa n’okuvumbula omulenzi byatamuwa ekivaamu kuba kutandika kwenda. Kino kitiisa abavubuka okwagala abawala abakyali embeerera nga bagamba nti ebintu bw’abiyiga, obuwoomi bw’abyo obukulu takutta.

9 Eby’obuwangwa. Abavubuka abamu bakulidde mu bya buwangwa oba ne bazadde baabwe nga bamanyi eby’obuwanggwa nga bababuulira nti waliwo by’olina okukola ssinga obeera gwe oggyeko omuwala embuzi ye ebintu abamu bye batayagala kutuukiriza era ekiddirira kwe kwesamba abawala bano.

10 Abamu bw’omuggyako embuzi akukyawa. Olw’obulumi obungi omuwala bw’ayitamu nga bamuggyako embuzi, ate ekifo ky’okwagala omulenzi, omutima gumukyawa bukyayi nga kino kireetera abavubuka nabo obutayagala kutawaana kuba baba balowooza nti balala be bagenda okukifunamu.

Kansala Florence Nakato omukugu mu nsonga z’amaka n’abavubuka e Nakulabye agamba nti wadde ng’ensonga ezo abavubuka baziwa waggulu naye omuwala alina embuzi, aba wa kitiibwa nga buli muvubuka yandibadde amwegomba okumufuna era batya lwa butamanya.

Agamba nti kituufu wabeerawo obuzibu, abavubuka abaganza abawala bano okubayigiriza naye ekyo tekikulemesa kufuna kintu kye weesabuukululidde nga kyandibadde kirungi omuvubuka bw’aba asanze omuwala ng’ono n’akolagana n’abantu abamusingako wabula n’atamudduka kuba ayinza okufi irwa ebirungi ebimulimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...