TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebintu 12 akwagalira ddala by'asobola okukukolera

Biibino ebintu 12 akwagalira ddala by'asobola okukukolera

Added 11th November 2017

ABAGAMBA nti omukwano tegulina fomyula bandiba abatuufu anti buli omu agutegeera bubwe. Mu mbeera eno, kiba kizibu okumanya akwagalira ddala n’oyo aba akulimbalimba.

 Arthur Blick n’owewuwe nga banyumirwa omukwano. Baasangiddwa ku Imperial Hotel.

Arthur Blick n’owewuwe nga banyumirwa omukwano. Baasangiddwa ku Imperial Hotel.

Kansala Rebecca Naluyima e Kasubi era nga mukugu mu kubuulirira abafumbo abagamba nti bino bye bimu ku bintu kwolabira omuntu akwagalira ddala oba by’asobola okukukolera.

1 Okulekayo by’ayagala n’akola ebibyo: Omuntu yenna yatondebwa nga yeefaako n’okwesanyusa, wabula omukwano nga bwe guli omuzibu, ssinga oli aba akwagalira ddala, asobola okuleka okukola ebimusanyusa nga ye n’akola ebikusanyusa oba ebibasanyusiza awamu.

2 Afuba okumanya buli ekigenda mu maaso mu bulamu bwo: Omuntu akwagala era ng’afaayo gy’oli, afuba okugoberera ebigenda mu maaso mu bulamu bwo si lwakuba nti aba takwesiga ng’abamu bwe batera okukirowooza wabula aba akikola lwa mukwano.

3 Kiba kizibu okusula nga takuweerezzaayo ku bubaka bwa mukwano: Afuba okulaba ng’awuliziganya naawe ne mu matumbibudde. Abamu olw’omukwano gwe baba nagwo, bamanyi okubeera ku ssimu n’otulo ne tubatwala nga boogera oba nga baweereza bubaka. Kale ssinga munno akukolera ekintu kino, musiime kuba aba akwagalira ddala.

4 Okukubuulira ku kyama kye ekisingayo: Kimanyiddwa nti ekyama ekibuuliddwaako owookubiri kiba tekikyali kyama, wabula waliwo embeera y’omukwano weekuteeka mu kattu naddala nga muno omwagala ne weesanga ng’oyogedde n’ekintu kye walayira okwesigaliza. Kale munno bw’akubuulirako ku kyama kye, naawe osanaye okukikuuma.

5 Okukusindikira obubaka buli kiseera. Empuliziganya wakati w’abaagalana kye kimu ku bintu ebisinga obukulu noolwekyo munno singa afuba okulaba ng’ateekawo empuliziganya kitegeeza omukwano gwammwe okubeerawo kwago kikulu gy’ali era akwagala.

6 Okukuteekako obugya/ebbuba: Abaagalana naddala okusinga abakyala balina enjogera egamba nti, omusajja bw’atampubira simanya nti anjagala. Kino kituukira bulungi ku nsonga eyo nti omuntu oyo yekka akwagala ebitaliimu buyaaye, era yasobola okuwulirako obusungu ng’akulabye n’omuntu omulala gwatamanyi. Akwagalako obwagazi ne bw’akulaba n’omusajja oba omukazi omulala tafaayo kuba kiba tekimuluma.

7 Asanyukira obuwangu zi bwo; Omukyala oba omwami ayagala munne asanyukira obuwanguzi bw’aba atuuseeko wadde ng’olumu kizibu okumanya asanyuse. Omuntu akwagala asigala ng’akitwala ng’ekikulu n’olumu okukuyamba okutuukiriza ky’oba oyagala ssinga aba n’obusobozi, naye atakwagala awo wakireka.

8 Alwanira wamu naawe mu buli mbeera: Obulamu si bwa kaseerezi kuba mubaamu obiwonvu n’ebikko, katugambe mu biseera ssente ezaaliwo nga ziweddewo oba ng’omu ku mwe ali muzibu oba mu mabanja, omuntu yekka akwagala y’asobola okukubeererawo mu kiseera ekyo n’alwana naawe.

9 Afaayo eri famire yo: Omuntu akwagala afaayo ku buli ekikukwatako nga bwe gutuuka ku kya famire zammwe, ebeera efuuse emu nga buli ky’akola agirowoozaako n’okubayamba. Naye oyo atategeeza ky’akwagala tatera kwesembereza baηηanda zo.

10 Okwambala ku lulwo, oba gwe by’oyagala: Abantu abamu baagala okwambala ebibanyumira era bye basuubira nti bye bibawa emirembe kyokka ate emirundi egimu ne bafuna abaagalwa ng’ennyambala zaabwe tezibakolera. Kino kitegeeza baaba balina okusalawo okulekayo bye baagala, olwo bambale abaagalwa baabwe bye baagala kuba babaagala. Ekyo asobola okukikola y’oyo akwagalira ddala naye ayitirawo obuyitizi akkiriza n’akufi irwa naye nga takyusizza ky’ayagala.

11 Okuyisa n’okuleka obubaka bwo obw’omukwano ku mikutu gya yintanenti: Abantu abamu batya okuteeka ebifaananyi oba obubaka bw’abantu be baagala ku mikutu gya yintanenti nga “facebook” naye oyo asobola okukikola bwaba akwagalira ddala nga tafuddeyo ku ani agenda kulowooza oba kwogera ki wabula atunuulira mukwano gwamnwe gwokka.

12 Yeenenya ng’asobezza: Omuntu yenna akawagala yeewala okukunyiiza era bwe musowagana, eky’okwetonda takirabamu buzibu. Naye atakwagala n’ekigambo “nsonyiwa” kimuzibuwalira kuba aba alaba talina kyafi irwa bw’omukyawa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...