TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Laavu gye nalina eri baze nagaana okumuzzaako

Laavu gye nalina eri baze nagaana okumuzzaako

Added 23rd November 2017

NZE Jane Karutaro 46, mbeera Wabigalo Wabinyonyi mu Nakasongola. Nafiirwa baze mu 1996 nga yali mujaasi wa UPDF, wabula okuva lwe twamuziika eby’abasajja saabiddira.

Baze we yafiira, twali tubeera Butenga mu muluka gwa Kisuro Birere mu Disitulikiti y’e Isingiro era we yafiira nga tulina abaana basatu.

Twamala ne baze emyaka 10 mu bufumbo ne mmwagala nnyo ate nga tanjuza. Olw’omukwano gwe nnalina gy’ali, katono anyingize amagye.

Baze bwe yafa, ensi yanfundirira anti buli kye nayitanga ekyangu, ne kitandika okukaluba anti ng’obuyambi sikyalina gye mbuggya kuba ne bazadde bange baali tebalina.

Wabula kye nasalawo kwe kwesonyiwa eby’abasajja ku myaka 28, gye nnalina ne ntandika okunoonya ebipakasi okukuza abaana bange kuba nakimanya nti bwe nziramu ne nfumbirwa abaana bano be nsookeddeko bayinza obutasoma kuba teri musajja yandibaweeredde.

Abasajja bangi baayagalanga okumpasa nti bamponye ekiwuubaalo naye nga nze ntunuulira kimu baana bange n’engeri gye mbakuzaamu era nasobola okubasomesaako okutuuka we nasobola.

Kati bavuddemu basobola okwesakira nga nange bwe nnyambako ekitono kuba amaanyi gankendedde n’emirimu egy’amaanyi gye nakolanga sikyagisobola.

Nanyiigira Gavumenti yaffe kuba teyankwatirako mu kukuza n’okusomesa abaana nga newankubadde baze yali mukozi waabwe okumala emyaka mingi.

Nawanjagako ne hhenda mu bbalakisi e Mbuya okulaba nga nnyambibwa ne bansaba empapula z’obuzaale bw’abaana bange, ebbaluwa okuva ewa Ssentebe, ebbaluwa y’okufa kwa baze (Death Certificate) n’ebirala bingi ne bansindika e Bombo naye baantambuza n’obwoya ne bunzigwa ku ntumbwe.

Kati nasigala kutunula wabula abaana bange bannuma obutasoma kutuukako mu matendekero ga waggulu ekiyinza okubakosaamuko nga banoonya emirimu naye eky’okukola sikirina nabakwasa Mukama omuzadde w’abo abataliiko baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...