TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebirungo ebinaafuula Ssekukkulu ya 2017 ey'enjawulo

Ebirungo ebinaafuula Ssekukkulu ya 2017 ey'enjawulo

Added 12th December 2017

SSEKUKKULU lwe lumu ku nnaku abantu ze basinga okwesunga, era lutwalibwa nga lwa njawulo nnyo. Okwongera okufuula olunaku luno olw’enjawulo, waliwo ebintu bye muyinza okukola ate ne munyumirwa.

 Aba famire nga balya ekijjulo kya Ssekukkulu

Aba famire nga balya ekijjulo kya Ssekukkulu

1 Mugendeeko mu bifo gye mutatera kugenda. Okugeza muyinza okulumalirako mu kkuumiro ly’ebisolo, mu bifo by’obulambuzi nga myuziyamu oba okugendako ku mbalama z’ennyanja, mu nsozi n’abalina obusobozi musobola okugendako ebweru w’eggwanga.

2 Muyinza okusalawo okulya ekyemisana mu kifo eky’enjawulo nga mu wooteeri. Kuno tekuba kwejalabya ng’abamu bwe balowooza wabula y’emu ku ngeri abaagalana gye basobola okufuulamu Ssekukkulu ey’enjawulo ku nnaku endala.

3 Mwewe ebirabo nga famire. Kino tekitegeeza kugula ekintu eky’ebbeeyi ennyo. Okutona kintu kikulu nnyo naddala mu kiseera kino era kyongera ebbugumu mu bulamu bwammwe.

4 Musobola okulumalira mu bakadde ababazaala. Kino kijja kuleetawo enjawulo naddala bwe muba nga bulijjo mubadde mulumalirako mu maka gammwe. Muyinza okusalawo okulumalira mu bazadde b’omukazi oba mu b’omusajja, mujja kulabawo enjawulo.

5 Musobola okusalawo okukolera awamu emirimu nga famire. Bwe kiba nga bulijjo mulina abayambako mu mirimu gy’awaka, ku luno mwekolere buli kimu nga buli omu yenyigiddemu, mujja kulabawo enjawuoo era olunaku lujja kubanyumira.

6 Mukyuse entegeka y’awaka mujja kulaba ng’amaaso gammwe ganyumirwa enkyukakyuka gye mukoze.

7 Mukyuse mu nfumba. Bw’oba oli wa mu kibuga, ojja kwesanga nga tolina kipya ky’ojja kufumba kubanga emmere yonna ogirya kyenkana buli lunaku. Noolwekyo, okukyusaako, ku luno fumba mu ngeri ey’enjawulo. Bw’oba obadde osiika, ku luno fumba boyiro. Oyinza n’okusalawo ennyama oba enkoko okugyokya, okusinga okufumba eya ssupu.

Bw’oba amatooke obadde ofumba masuulemu, oba ng’oganyiga na mulawo, ku luno gasibe bulungi mu ndagala era onyige ozzeeko. Gattako by’ototera kufumba nga katunkuma, enva endiirwa n’ebirala by’ototera kufumba, abantu bo bajja kunyumirwa olunaku era lube lwa njawulo nnyo mu bulamu bwabwe.

8 Okutambulako ababiri ng’abaagalana nayo nsonga nkulu era kijja kufuula olunaku lwammwe olw’enjawulo. Bwe muba musiibye awaka n’abantu bammwe, akawungeezi mufuneeyo ekiseera mutambuleko mwembi, ne bwe muba ku kyalo kyammwe, we munaakomerawo mujja kuba mufunye akaseera ak’enjawulo, era nkakasa nti kijja kuzza buggya obulamu bwammwe obw’obufumbo.

9 Muyinza okusalawo okululya n’abantu bammwe, oba mikwano gyammwe. Kino kijja kugifuula ya njawulo era bw’oba olina ekifo ekigazi bayinza n’okusula ne mwongera okunyumirwa. Bw’oba n’abaana kino kijja kubasigamu omutima ogubeera n’abantu era n’okuyiga nti Ssekukkulu lunaku lwa njawulo ddala mu bulamu bwabwe.

10 Kirungi mutandike nga bukyali okwetegekera Ssekukkulu. Musobola okusalawo okukola bajeti y’ebintu bye munaakozesa nga famire era bwe mutuuka okubigula ne mugenda mwenna nga famire, kijja kwongera okuleeta ebbugumu mu lunaku luno era abaana bajja kukinyumirwa.

Rebecca Naluyima ow’e Kasubi nga mukugu mu kubudaabuda abantu yagambye nti olunaku lwa Ssekukkulu luba lwa njawulo eri buli muntu omuli abaana n’abakulu.

Ky’ova olaba abantu balulindirira omwaka mulamba nga n’abasinga baluterekera ensimbi nnyingi kyokka era ne beekanga nti tebanyumiddwa nga bwe babadde basuubira, olw’okusuulirira ebintu ng’ebyo waggulu.

“ Abafumbo abandibadde bakozesa nnyo omukisa gw’olunaku lwa Ssekukkulu okwezza obuggya mu mukwano gwabwe kuba luno lwe lumu ku nnaku omu mwaka omuntu lw’asinga okubeerera n’ebirowoozo nga biri wamu nga buli ekigenda mu maaso tasobola kukyerabira era ky’ova olaba nti omuntu osobola okumubuuza ekyabaddewo omwezi gumu emabega nga takijjukira naye ng’ate asobola okujjukira ekyaliwo ku Ssekukkulu eyaliwo emyaka nga ena egiyise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...