TOP

Ensundo ziva ku ki?

Added 20th December 2017

BANKEBERA ne baηηamba nti nnina ensundo ku mumwa gwa nnabaana. Kiva ku ki era ki ekinavaamu.

ENSUNDO mu bitundu by’ekyama bulwadde bwa kikaba. Era kitegeeza nti weegatta n’omuntu ng’azirina n’akusiiga. Ate naawe osobola okusiiga omuntu omulala.

Era ensundo zino bw’obeera nazo oluusi kiba kyangu okufuna kookolo.

Naye ensundo ziwona. Newankubadde abantu bangi bwe bazifuna balowooza nti babaloga. Era abantu bangi balwa n’ensundo nga tebafunye bujjanjabi era ebivaamu tebibeera birungi.

Ekirala njagala okumanya ani eyakugamba nti olina ensundo ku mumwa gwa nnabaana?. Kubanga kino okimanya ng’osoose kulaba omusawo omutendeke.

Oluusi abantu abalina ebizimba ku mumwa gwa nnabaana balowooza nti balina ensundo.

Kale olina okwetegereza oba okugenda n’olaba omusawo omutendeke kubanga basobola okuzirongoosa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...