TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyannemesa emisomo namukyawa lwa bwenzi

Eyannemesa emisomo namukyawa lwa bwenzi

Added 6th January 2018

OMUSAJJA eyannemesa emisomo gyange namukyawa lwa bwenzi kubanga nnali ntya okundeetera endwadde.

Nze Fazira Kagoya 34, omutuuze w’e Wandegeya mu Katanga Zooni. Nasisinkana ne Sseruwagi nga nnina emyaka 14 nga ye alina emyaka 20 oluvannyuma lw’okutuuka ku nzikkiriziganya naye.

Sseruwagi yali mutunzi wa ngatto ebiseera ebyo era nabeera naye okumala emyaka 16 mu bufumbo. Twayawukana tulina abaana mukaaga.

Mu kusooka twalina essanyu mu maka gaffe wadde nga yali afuna kitono era ng’obuvunaanyizibwa ng’omusajja abutuukkiriza.

Wabula yagenda akyuka kuba yali afunyeyo omukazi nnamba bbiri era ng’amuwasizza era wano we natandikira okuloza ku nnaku y’obufumbo.

Nnali maliridde okubeera ne Sseruwagi kubanga ye musajja gwe nasookerako mu bya laavu era ndi mwetegefu okugumira buli kimu wabula obwenzi bwamunnemesa ne nsalawo okwesonyiwa abasajja.

Kati ntunuulidde kimu kya kulabirira baana bange babeere bulungi”.

Mu kiseera kino, mbeera wa maama wange we nkolera ogw’okusiba enviiri z’abakyala n’abaana lwakuba nti mbadde sinnafuna bakasitoma bangi nga ne kapito mutono ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...