TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ibanda bw'okkiriza okweyanjula nkuweerawo abalongo

Ibanda bw'okkiriza okweyanjula nkuweerawo abalongo

Added 6th January 2018

Ibanda bw’okkiriza okweyanjula nkuweerawo abalongo

NZE Hannifah Ibanda, nnina emyaka 30. Mbeera Makindye era nga ndi mufumbo mu maka g’omwami wange Ibanda nga tulina abaana basatu.

Twesisinkana ne Ibanda mu 2010 ne twagalana era ebbanga lye tumaze siryevuma.

Nsooka okwebaza Katonda olw’okumpa omusajja ow’ekirooto kyange kubanga nasabanga Katonda ampe nga wange bw’omu era bwatyo n’addamu essaala zange.

Mu bulamu bwange, simanyi oba waliyo omusajja omulala ku nsi kuno alina omukwano n’empisa nga Ibanda kubanga alabika yaviira ddala mu ggulu n’ajja nga wange nzekka.

Olunaku lumu lwe sigenda kwerabira, bwe yali akyankwana nalwawo nga mukandaaliriza nga sikkiriza bye yali aηηamba era naye okundaga nti kye yali ayogera yali akitegeeza, lwe yankolera akabaga k’amazaalibwa nga sikasuubira bannange katono nzirike kubanga nange nali nabyerabira.

Okuva olwo, omukwano gwaffe gwayongera okulinnya n’okutuusa kati nnyirira bwenti lwakuba anfukirira nga kimera neme kukala.

Kye nasazeewo omwaka guno, nteekwa okumukakasa mu bantu nti ku ye kwenfi ira nga mwanjula mu bakadde bange era ekyo olunagwa nga muweerawo ekirabo ky’abalongo be kiruma ky’ongere okubanuguna.a

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...