TOP

Nnyazaala kkooyi!

Added 12th January 2018

Nze Aisha Kobusingye, nnina emyaka 30. Mbeera mu Katanga e Wandegeya. Neevuma olunaku baze lwe yafa kubanga eno ye yali entandikwa y’okubonaabona kwange.

ENJOGERA egamba nti okusanga nnyazaala wo osanga amalaalo etuukiridde mu bulamu bwange.

Nze Aisha Kobusingye, nnina emyaka 30. Mbeera mu Katanga e Wandegeya. Neevuma olunaku baze lwe yafa kubanga eno ye yali entandikwa y’okubonaabona kwange.

Okutandika obufumbo ne baze, twasisinkana Sudan gye nali nkola ogw’okufumba mu wooteeri nga ye akola bwa makanika. Wabula mu 2016, abajaasi b’e Sudan baamukuba amasasi n’afi irayo.

Omwami wange yafa tuzadde omwana omu era mu kiseera ekyo omwana yalina emyaka ebbiri.

Omwami wange ng’afi iridde mu lutalo e Sudan, omwana yatandika okulwalalwa era oluvannyuma abasawo ne bakizuula nti alina obulwadde bwa Nalubiri (Sickle cells) kyokka olwakibuulirako nnyazaala wange yaηηamba nti ye abaana be yazaala temuli wa bulwadde bwa Nalubiri noolwekyo omwana si wa kika kya Nkima. Kino kyankuba wala kuba wali tewanayita bbanga nga baze afudde.

Omwana yeetaaga obujjanjabi kubanga bamujjanjabira wakati wa 30,000/- ne 40,000/- buli lwe tugenda mu ddwaaliro e Mulago.

Omwami wange ng’akyali e Sudan, abooluganda lwe baali tebava waffe olw’okuba yalina ssente ng’era buli muntu addukira wuwe naye kyewuunyisa nti mu kiseera kino tewali gwe ntuukirira n’ampa buyambi bwa mwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...