TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi yansuulira abaana n'agenda akole obwayaaya

Omukazi yansuulira abaana n'agenda akole obwayaaya

Added 24th January 2018

Njagala mukyala wange akomewo eka tukuze abaana baffe nze ndi musajja mukozi era nja kubakolerera.

 Kasozi

Kasozi

MUKAZI wange yasuulawo abaana baffe babiri n’agenda okukola obwayaaya. NZE Robert Kasozi, mbeera mu Ndeeba mu Nsiike Zooni.

Twasisinkana ne mukyala wange mu 2012 ng’azze okulaba fi rimu mu kibanda kyange ekya firimu.

Yali muwala mukkakkamu, mukozi ate ng’alina empisa. Yali tamanyi Luganda ne ndumuyigiriza ekyamusanyusa era ne tukwatagana bulungi.

Mu mukwano guno mwe twazaalira abaana baffe babiri. Buli kimu kibadde kitambula bulungi okutuusa omukyala omu bwe yamusigula n’amugamba nti agende amukolere awaka we.

Mukyala wange olwamugamba nti agenda kumusasula 25,000/- buli mwezi, kwe kundekera omwana omu ate omulala omuto n’amutwala ewaabwe mu kyalo n’amuleka eyo ye n’agenda okukola obwayaaya.

Ekinnuma nti abaana kati babonaabona kyokka ye alabirira ba balala. Kyokka ekyewuunyisa, bazadde b’omuwala baagala nze nsasule omuwala ono kyokka nga sibeera naye kati mbuuza olwo mba nsasula ki?

Njagala mukyala wange akomewo eka tukuze abaana baffe nze ndi musajja mukozi era nja kubakolerera.

Nali manyidde okuddayo awaka ng’emmere eyidde naye kati sirina anfumbira wadde okunjoleza. Mukyala wange yonna gy’oli nkusaba okomewo eka tukuze abaana baffe.

Yava mu kyalo n’ajja awaka mu nnaku enkulu kyokka ng’omwana omuto tazze naye ne mubuuza omwana gye yali kwe kuηηaamba nti ku mwana nange ani gw’osinga okwagala nze saamuddamu kumbe olwo ng’ayagala kugenda mu kyalo.

Era ennaku enkulu olwaggwa, yamalawo ebbanga ttono n’agenda. Nsaba abakyala naddala abalina ssente okukomya okusigula bakyala baffe.

Toyinza kugamba mukazi asuulewo abaana be, ajje alabirire ababo. Ngezaako okulabirira abaana bange naye si byangu anti mba nnina okugenda okubanoonyeza eky’okulya ate nga baliko emirimu mingi n’okubalabirira.

Mukwano yonna gy’oli nsaba okomewo nze nkwagala ate saasira n’abaana baffe kubanga gwe musingi gw’eggwanga ly’enkya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...