TOP

Ag'emugga gatuuse okungobya

Added 26th January 2018

BWE mba njagala okubeera n’ag’emugga nkola ntya

BWE mba njagala okubeera n’ag’emugga nkola ntya kuba sirina mazzi era ntya nti omusajja agenda kunkyawa. Ssenga nnyamba ntaase obufumbo bwange.

OMUSAJJA ono nga tanakugoba oba okukukyawa, yandisoose kwetegereza lwaki tofuna bwagazi. Abakyala abamu tebafuna bwagazi kuba abasajja tebabayamba kubufuna.

Buvunaanyizibwa bwa musajja okunoonya omukyala asobole okufuna obwagazi. Abakyala tebalinga basajja nti bw’ayagala okwegatta ng’afunirawo obwagazi. N’ekirala omwami ono kyasinga okukwagalako kwegatta kwokka?

Talina bugumiikiriza okwetegereza embeera eno lwaki ogirina era ne mugisalira amagezi? Olwo ssinga naye tafuna maanyi g’akisajja, olina ku mulekawo bwotyo nga totegedde kwe kiva.

Abakyala balina obusobozi okufuna obwagazi, naye oluusi ebintu ng’omusajja obutakunoonya bulungi, okwegatta n’omusajja nga tomwagala, ebirowoozo ng’ogenda okwegatta n’ebirala bireeta embeera eno.

Waliyo n’abakyala ng’okwegatta bakutwala nga kivve, kale bw’oba n’endowooza eyo kiba kizibu okufuna obwagazi.

Oluusi oyinza okuba ng’oli mukoowu, ng’omubiri tegusobola kuta. N’ekirala abasajja abamu bali mu bufumbo naye nga mu butuufu naawe okimanyi nti omusajja takwagala, akukozesa bukozesa oba atuukiriza buvunaayizibwa bwa bufumbo.

Mu mbeera bwetyo kizibu omukyala okufuna obwagazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...