TOP
 • Home
 • Ssenga
 • Yongera ebirungo mu kisenge munyumirwe

Yongera ebirungo mu kisenge munyumirwe

Added 6th February 2018

EBISEERA ng’obufumbo bwakatandika, abaagalana buli omu aba tayagala kumala kiseera kinene nga tali na munne.

 Abaagalana nga bali mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko. Okugendako ‘awutu’ kizza omukwano.

Abaagalana nga bali mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko. Okugendako ‘awutu’ kizza omukwano.

EBISEERA ng’obufumbo bwakatandika, abaagalana buli omu aba tayagala kumala kiseera kinene nga tali na munne.

Ekizibu nti embeera eno teba ya lubeerera. Bannassaayansi bagamba nti abaagalana bwe baba baakalabagana emibiri gyabwe gifulumya ekirungo ekimanyiddwa nga ‘xytocin’ ekibayamba buli omu okuwulira ng’ayagala munne okutuuka mu busomyo, era y’ensonga lwaki mu kiseera ekyo, buli lw’osemberera munno owulira ng’alimu amasannyalaze agakusika.

Ekirungo ekyo kikola ng’eddagala erikwataganya abaagalana bano abamu ne batuuka n’okulowooza nti osanga munne yamuloga olw’okuba buli kiseera abeera amuyoya, so nga kiva ku kirungo ekyo.

Okukwatagana ku mikono, okwegwa mu kifuba, okwenywegera n’ebintu ebirala bingi ebikolebwa abaagalana okulaga omukwano.

Abaagalana buli omu bw’atandika okuyaayaanira omubiri gwa munne kye kimu ku bintu ebireetawo ekyokwegatta okusobola okufuna okumatizibwa mu nsonga z’omukwano.

Noolwekyo, abafumbo okusobola okukuuma omukwano mu mwaka guno, kirungi bayiiye ebinaabayamba okukuuma ekirungo kino mu mibiri gyabwe babeere nga buli kiseera buli omu ayoya munne.

Ebimu ku bisobola okukolebwa okukuuma embeera eno mulimu; Kyusa mu ngeri gy’osabamu munno akaboozi.

Ensonga eno amaaso, kubanga bangi tebakozesa bigambo, wabula olutuuka mu buliri olwo ng’omu atandika kwefulukuta.

Ekibi ky’enkola eno, omu ayinza okuba nga eby’akaboozi kw’olwo si ekivaamu butanyumirwa.

Mu ngeri y’okukyusaamu, okugeza omukyala, munno oyinza okumugamba nga bw’onyumirwa okukwata mu kirevu kye, oba ekifuba kye nga bwe kikulabikidde obulungi.

Ate omusajja oyinza okutandikira mu kuwaana ebbeere lya munno, oba akabina oba ekitundu ekirala kyonna. Kino kijja kumusumulula amanye nti omwetaaga era we munaatandikira biri byennyini ng’onazaako bunaza, era nkakasa mujja kutambula bulungi.

Bwe muba awaka oba mu kisenge, mwemanyiize buli omu okuweeweeta ku munne. Bannassaayansi bagamba nti abaagalana buli lwe bakwatagana mu mikono, okwenywegera, okwegwa mu kifuba n’ebikolwa ebirala ng’ebyo kireeta ekirungo kya ‘oxytocin’ ekiyamba mu kukkakkanya omubiri.

Ekirungo kino era kye kifulumizibwa ng’omuntu atuuka ng’omukwano gwammwe gwongera okunywera n’okubanyumira. Mwawule essaawa ze munyumiza ku bya laavu kweyo gye mwogerera ku bizibu byammwe n’ebibasoomooza.

Abantu abamu bwe bafunayo akadde bombi, tebafaayo ku nsonga ki ze balina okwogerako ne beesanga nga bagasse ebinyiiza n’ebibasanyusa.

Eno y’ensonga lwaki oluusi osanga abaagalana abagenzeeko awutu okucakala n’okusanyuka kyokka gye biggweera ate nga bayombeddeyo oba n’okulwana.

Kirungi bwe kiba kiseera kya mukwano, ebirala mubisse ku bbali musobole okunyumirwa ekiseera ekyo.

Muyiiyeeyo ebintu bye mukolera awamu ebinaayongera okunnyikiza omukwano gwammwe.

Okugeza mwemanyiize okweweereza obubaka obubacamula era obunaabateeka mu muudu. Kino kijja kubayamba okwongera ebbugumu mu mukwano.

Bwe muba mu kisenge, munno mukakase nti omwetaaga mu kiseera ekyo. Weggyeemu ensonyi kubanga bw’osalawo okwewa omuntu olina okumwewa yenna.

Kirungi buli kiseera oyiiyeeyo akapya akanaacamula munno. Buli lw’oleeta ekipya kijja kukuyamba okwongera okuyiga munno n’okumanya by’ayagala era ebimucamula.

Okunyumirwa obulungi akaboozi, mufube okulaba nga mukyusa mu ngeri gye mwesanyusaamu. Weefuule nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.

Toganya munno kukumanya engeri gy’okolamu emirimu atuuke n’okumanya nti bw’okwata wano, olwo ng’ozzaako wali, nedda.

Ku luno ensonga bw’ozitwalira ku sipiidi 20, ate oluddako mutwalire mu 120. Kino kijja kussaawo enjawulo era buli lwe mwegatta munno ajja kuba yeesunga.

Buli lwe muba muneesanyusa, kirungi ne mussaawo embeera eneebasobozesa okunyumirwa.

Okugeza musooke mufune akyokulya ekirungi, nga mutaddeko n’obuyimba obuseeneekerevu, mujja kulaba nga buli kimu kyekola kyokka.

Abaagalana nga bali mu mukwano.

 

Ebirala binaagumya omukwano

 • Ennyambala yammwe nakyo kintu kikulu. Kirungi okwemanyiiza okwambala ebikunyumira ate nga ne munno bimunyumira ng’akulabyeko. Buli lw’oyambala n’onyuma ne munno w’abeera yeesunako era abeera musanyufu.
 • Okwerwanirira nayo nsonga nkulu eyamba okunyweza abafumbo n’abaagalana kubanga buli lw’olwanirira munno muli akimanya nti ddala omufaako.
 • Okwewa ekitiibwa kikulu kubanga bw’okiwa munno naye ajja kukikuwa.
 • Weemanyiize okusiima munno bw’abaako ky’akukoledde ne bwe kiba kitono kitya.
 • Nnyiikira okugabira munno ebirabo, era nga bwe wakolanga nga mwakalabagana.
 • Munno muyite amannya agasuusuuta, ojja kulaba nga kyongera okunyweza laavu yammwe. Muyite Laavu, Switi, Bbebi, Mmami, Ddadi n’amalala.
 • Obwetoowaze kintu kikulu nnyo eri mu bulamu naddala obw’obufumbo.
 • Obuyonjo. Kino kintu kikulu nnyo mu bufumbo okuviira ddala ebweru okutuuka mu kisenge. Bwe muba abayonjo buli kimu kitambula bulungi.
 • Okutambulako mwembi mu bifo ebisanyusa amaaso nakyo kijja kubayamba ‘obuteebowa’, ate buli lwe muba abasanyufu ensonga z’ekisenge nazo zitambula bulungi.

Rebecca Naluyima abuulirira abaagalana ng’abeera Kisubi yagambye nti abantu bwe baba baakayingira mu bufumbo bakola ebintu bingi ebinyweza laavu yaabwe naye bwe balwawo nga babivaako nga kino oluusi kye kireetawo embaliga mu maka oluusi ne gasaanawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...