TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okufa kwa baze ye yali entandikwa y'ennaku yange

Okufa kwa baze ye yali entandikwa y'ennaku yange

Added 3rd March 2018

NZE Pretty Nakayima 18, ndi mulimi. Mbeera Bujjayo mu ggombolola y’e Kalangaalo mu disitulikiti y’e Mityana.

Nasisinkana baze Nelson Ssemuyaba kati omugenzi nga nsoma S.2, n’afa ng’omwana waffe wa myezi mukaaga mu kiseera kino ndi mu bbanga kubanga sirina mulimu.

Nakula ne maama kuba taata yafa ndi muto wabula oluvannyuma maama embeera yamulemerera kwe kutwala ewa kojja e Mityana nsome ng’eno gye nafunira omusajja eyanneegwanyiza mu bbanga ttono ne nfuna olubuto era mu 2014 ne tutandika obufumbo.

Obwannamwandu tebuva wala, nga July 29, 2017 baze yagwa ku kabenje n’afi irawo n’andekera omwana wa myezi mukaaga. Nali ηηenze kusaba amawulire ng’okufa kw’omwami wange gye ga nsanga.

Yali ava mu ddwaaliro e Kasambya ng’avuga mmotoka ne batomeregana nafi ira mu kabenje.

Okuva baze lwe yafa mbadde ntoba ng’omukazi kubanga abafamire y’omugenzi tebalina buyambi bwe bampa.

Mu kiseera kino, omwana mulwadde naye ne ssente ezimujjanjabisa sizirina kuba n’enkoko ze nnali ntadise okulunda zonna zaalwala ne zifa.

Nageezaako okuddukirako mu booluganda lw’omwami wange wabula baηηamba kimu nti nabo balina obuvunaanyizibwa bwabwe ne bampa amagezi nfune omusajja omulala nfumbirwe.

Obuzibu, ntya okudda ewa maama e Masaka Kabaale Bugonzi kubanga tebamanyi nti nazaala era tebaamanya kufa kwa baze.

Mu kiseera omwami wange we yafi ira yali ategeka kukyala ewaffe mu mwezi September n’afa mu July kyokka maama amanyi nti nkyaliyo ewa kojja gye yantwala okusoma.

Nsazeewo okujja mu Bukedde omuntu yenna alina omulimu anziruukirire kubanga ndi mukyala mukozi ate nnina okulabirira omwana wange kuba mu bbanga ttono agenda kutandika okusoma.

Alina obuyambi bwonna asobola okunfuna ku nnamba yange 0705610954.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...