TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri akawoowo gye kayamba omusajja okucamuka

Engeri akawoowo gye kayamba omusajja okucamuka

Added 13th March 2018

AKAWOOWO k’omukazi kayamba munne okukuba saluti. Era abasajja bangi bwe baliraana omukazi eyeekubye obulungi akawoowo, bangi batandika okukwata mu mpale okuziyiza okulaba zzipu z’empale zaabwe bwe zeereeze.

Abakugu baazudde nti era omukazi eyeekubye akawoowo bw’aba mu kifo omusajja w’ataasobolere kaboozi, kwe kuwulira nga beesooza (abasajja).

Era omusajja okwebaka mu buliri obuwunya akawoowo k’omwagalwa we anyumirwa otulo ne yeebaka ‘Bukeerere tazindwa..’

Wabula akabi kali ku muwala kukyawa musajja! Kubanga omusajja ono buli lw’awulira akawoowo k’omuwala ajula okufi irawo. Bino bye byazuuliddwa Polof. Jeannette Haviland-Jones owa Yunivasite y’e Rutgers mu New Jersey nga mukugu mu by’omukwano.

Wabula era yazudde nti bino byonna bikola ng’akawoowo ako ka kigero, naye bwe kasukka ne kaleetera omusajja okwasimula, okwayuuya olwo ate ng’obudde bulemye era ne saluti eyinza okulema okukubibwa, eby’akaboozi okulemagana.

Kino kiri bwe kityo kubanga akawoowo bwe kaba kalungi kayambako ku lusu oluyinza okuva mu bantu nga bali mu kaboozi naddala abanene.

Abanene batuuyana nnyo olw’ennyingo ze balina ennyingi ku mibiri gyabwe. Era kye bava bateekeddwa okumala ebbanga eddene nga banaaba, baggye ekko mu nnyingo z’omubiri zonna.

Obubonero obulala kw’oyinza okulabira nti akawoowo ko omusajja tekamukoze bulungi, kwe kufuna ‘alagye’ oba okumera olutiko.

Wabula akawoowo kano kaloopa nnyo abasajja abalina embaliga mu ngeri nnyingi ko. Ziba ziwunya, omukyala eka n’akubuuza gy’ogiggye.

Ate no bw’akukwatako nga n’amaanyi mu buliri tolina, kuba ow’akawoowo yagamazeemu, wamma ggwe zidda okunywa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...