TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri akawoowo gye kayamba omusajja okucamuka

Engeri akawoowo gye kayamba omusajja okucamuka

Added 13th March 2018

Engeri akawoowo gye kayamba omusajja okucamuka

AKAWOOWO k’omukazi kayamba munne okukuba saluti. Era abasajja bangi bwe baliraana omukazi eyeekubye obulungi akawoowo, bangi batandika okukwata mu mpale okuziyiza okulaba zzipu z’empale zaabwe bwe zeereeze.

Abakugu baazudde nti era omukazi eyeekubye akawoowo bw’aba mu kifo omusajja w’ataasobolere kaboozi, kwe kuwulira nga beesooza (abasajja).

Era omusajja okwebaka mu buliri obuwunya akawoowo k’omwagalwa we anyumirwa otulo ne yeebaka ‘Bukeerere tazindwa..’ Wabula akabi kali ku muwala kukyawa musajja! Kubanga omusajja ono buli lw’awulira akawoowo k’omuwala ajula okufi irawo. Bino bye byazuuliddwa Polof. Jeannette Haviland-Jones owa Yunivasite y’e Rutgers mu New Jersey nga mukugu mu by’omukwano.

Wabula era yazudde nti bino byonna bikola ng’akawoowo ako ka kigero, naye bwe kasukka ne kaleetera omusajja okwasimula, okwayuuya olwo ate ng’obudde bulemye era ne saluti eyinza okulema okukubibwa, eby’akaboozi okulemagana.

Kino kiri bwe kityo kubanga akawoowo bwe kaba kalungi kayambako ku lusu oluyinza okuva mu bantu nga bali mu kaboozi naddala abanene. Abanene batuuyana nnyo olw’ennyingo ze balina ennyingi ku mibiri gyabwe.

Era kye bava bateekeddwa okumala ebbanga eddene nga banaaba, baggye ekko mu nnyingo z’omubiri zonna.

Obubonero obulala kw’oyinza okulabira nti akawoowo ko omusajja tekamukoze bulungi, kwe kufuna ‘alagye’ oba okumera olutiko. Wabula akawoowo kano kaloopa nnyo abasajja abalina embaliga mu ngeri nnyingi ko.

Ziba ziwunya, omukyala eka n’akubuuza gy’ogiggye. Ate no bw’akukwatako nga n’amaanyi mu buliri tolina, kuba ow’akawoowo yagamazeemu, wamma ggwe zidda okunywa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...