TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebikendeeza obwagazi mu bakyala abakuze

Ebikendeeza obwagazi mu bakyala abakuze

Added 4th April 2018

ABAKYALA bangi bwe bakula tebaagala kwegatta era obwagazi bukendeera. Abasinga balowooza nti bw’okula tolina kwegatta era n’abamu bagamba nti kibi okwegatta nga n’abaana beegatta, endowooza eno ereetera abakyala bangi okuva ku kwegatta.

 Abaagalana nga bali mu laavu. Oluusi abantu bwe bakula ebyomukwano nga babivaako.

Abaagalana nga bali mu laavu. Oluusi abantu bwe bakula ebyomukwano nga babivaako.

Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abaagalana n’abafumbo yagambye nti okwegatta tekuliiko myaka. Omuntu yenna ng’alina obusobozi teyandivudde ku kwegatta.

Ebintu ebisinga okugaana abakyala abakulu okwegatta obulungi mulimu; Obusobozi mu mubiri; Abakyala abamu bwe bakula bafuna obunafu mu magumba era n’omubiri nga tebaagala kwegatta olw’okulumizibwa mpozzi n’amagulu okuba nti tegeeweta bulungi.

Ate oluusi endwadde abantu abakulu ze batera okufuna nga ‘arthritis, omugongo, okumekeeta kw’amagumba n’ebirala ng’ebyo bigaana omukyala okwegatta. Atandiikiriza mpola ogenda okulaba ng’abiviirako ddala.

Ate oluusi abakyala abamu bafuna omugejjo nga bakuze. Anti bw’ogejja otandika okunafuwa era weesanga oli munafu. Okwewala bino buli mukyala yandisigadde nga mwangu newankubadde ng’akuze.

Olina okugenda mu maaso okukola emirimu egiyamba omubiri okubeera nga mwangu. Kola dduyiro, teweefuula mugayaavu mu by’okola wabula omubiri gukozese.

Ate weewale ebintu oba emmere ekunafuya ng’ebintu ebirimu ssukaali omungi, omunnyo, amasavu, butto n’ebirala.

Omubisi ogufuula omukyala gukendeera. Omukyala oba omwami alina omubisi ogumufuula ky’ali.

Omusajja abeera ne ‘oestrgen’ ne ‘testestrone’ wabula omubisi oguyitibwa ‘testestrone’ gwe gubeera omungi mu basajja. Era mu buvubuka gweyongera okuyamba omuvubuka okukuza ekirevu, okutandika okukola amagi g’ekisajja, era n’eddoboozi okukyuka.

Kati ate omukyala alina ‘oestrogen’ nga mungi ku ‘testestrone’, era omubisi guno gweyongera ng’omuwala avubuka ne gukuza amabeere, n’agenda mu nsonga anti amagi gaba gakuze.

Kati ate bw’okula n’otuuka mu myaka nga 45, omubisi ogw’ekikyala gukendeera era oluusi ogw’ekisajja ne gutandika n’okulaga obubonero obulaga nti okuze ng’eddoboozi okubeera ng’eryekisajja, amabeere okuggwaamu ekinyusi n’ebirala. N’ekirala ekikendeera bwe bwagazi bw’omukyala.

Kale bw’onoonya omukyala omukulu olina okufuba kubanga obwagazi bubeera wala anti kyenkana obuswandi aba takyalina.

Ate mu butonde aba takyazaala kale nga n’obwagazi bwakendeera. Era embeera eno ekaza ensulo amazzi ne gakendeera, efunza obukyala ne bufuuka ng’obwomwana omuto.

Naye ssinga osigala nga weegatta ensulo zisigala zireeta era n’obukyala newankubadde bufunda naye era osobola okwegatta. Obwagazi bukendeera.

Kubanga oba oludde ne munno, okwegatta kutuuka ekiseera nga si kipya eri omukyala. Era omusajja alina okwefubako nnyo okulaba ng’asigala ng’asanyusa omukyalawe.

Alina okuyiiya ennyo, alina okukola ebyo by’alowooza nti bisobola okuggyayo obwagazi. Ebyembi abasajja abasinga bwe bakulana n’abakyala nga n’okwegatta bakuvaako.

Bw’alaba ng’omukyala tayagala tafaayo kuyiiya alabe ng’asigala mu kisaawe naye. Ekisookera ddala obwagazi bubeera wala kale olina okumunoonya mu magezi.

Jjukira nti ebyokwegatta buli lunaku ku myaka gino tekikola. Naawe olina okusonda amaanyi g’ekisajja. Kubanga bw’otogasonda n’omala mangu munno n’omuleka kimuyisa bubi.

EBIROWOOZO EBINGI BITTA OBWAGAZI

Ebirowoozo ebingi bubuza obwagazi. Ebiseera ebisinga mu myaka egyo abakyala abangi ebirowoozo babiteeka ku bintu birala ng’abaana, amabanja n’ebirala anti obudde bugenda ate ng’ebyokukola bingi.

Ate abakyala abamu ayinza okubeera n’ebimweraliikiriza mu bwongo, kale ng’okwegatta kizibu. Ekibi ennaku zino abakadde bangi tebalina kutegeka kulungi kale ne mu myaka egy’okuwummula bakola.

Omukyala omukulu ng’ali mu mbeera eno kizibu okufuna obwagazi okwegatta. Anti aba akola akomawo ng’akooye ate abeera mu birowoozo. Bakulu bannange mulina okwetegekera musobole okunyumirwa obukadde.

Endowooza y’abakazi ku kwegatta. Kino kikulu nnyo era nga wano kye kisinga okugaana abakyala abakulu okwegatta.

Abantu abasinga bwe bamala okuzaala ng’ebyokwegatta babivaako. Anti basinga okwegatta bakutwala nti okusinga kuyamba kuzaala. Tebamanyi nti okwegatta kwesanyusa, era nti n’abatazaala balina okwegatta era kuyamba n’okukuuma omukwano.

N’ekirala amaka nga galimu ebizibu omukyala talaba lwaki yeegatta n’omusajja era waliyo n’okutya okufuna obulwadde. Kale abakyala abakulu abasinga okwegatta bakwesonyiwa.

Abakyala abalala batya siriimu, era mu kutya okwo n’endowooza ze balina, obwagazi bukendeera era omukyala n’abiviirako ddala.

Naye nga buli muntu waddembe okwegatta newakubadde ng’akuze kubanga obwagazi newankubadde buba butono naye buba bumala era omukyala afuna bulungi amazzi era ne yeegatta bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...