TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Akawunti eyawamu etuyambye okwezimba

Akawunti eyawamu etuyambye okwezimba

Added 10th April 2018

Akawunti eyawamu etuyambye okwezimba

BETTY Musisi ow’e Mukono amaze ne bba emyaka 10 mu bufumbo. Bombi bakola era emyaka ebiri emabega bakkaanya batereke ssente basobole okugula poloti bazimbe amaka, bawone obupangisa. Kino okukituukiriza bakkaanya okussaawo akawunti y’ababiri (Joint account) era ne bakkaanya buli omu omutemwa gwa ssente z’ateekeddwa okussaako buli mwezi.

Kino babadde bakituukiriza era gye buvuddeko baawezezza obukadde 50 ku akawunti eno. Wabula Betty yabadde atandise n’okulamuza poloti kyokka bba n’akamutema nti ssente ayagala kuzigulamu mmotoka kuba akooye okusabanga banne lifuti. Kino Betty kyamukubye wala era yabadde akyalowooza nti bba tasobola kuggyayo ssente zino, yagenze okukebera ku akawunti nga nkalu, era bba yakomyewo avulumula mmotoka! Abaagalana okutereka ssente awamu kye kimu ku bipimo by’obwesigwa mu maka, wabula emirundi mingi ekigezo kino bakigwa era ebivaamu tebitera kuba birungi.

Patrick Nyakihinga omukugu mu by’ensimbi okuva mu kkampuni ya Juho Enterprises annyonnyola ku bikwatagana ne akawunti y’abafumbo engatte oba eyawamu bwati; Akawunti eno okugiggulawo muyita mu mitendera ng’ekisookera ddala abaagalana bombi balina okuteekayo empapula z’ebibakwatako.

Buli omu ateekayo omukono gwe ekitegeeza nti kino bwe kiba kikoleddwa okuggyayo ssente mwembi mulina kusooka kuteeka mukono ku mpapula. Ssinga omu abulawo kiyinza okubeerera omulala ekizibu okuggyayo ssente. Wabula waliwo abaggulawo akawunti y’ekika kino, naye nga buli omu asobola okuggyayo ssente munne ne bw’atabaawo. Kirabika kino kye kika Betty ne bba kye baggulawo.

Bwe mumala okuggulawo akawunti eno ekintu kyonna ekikolebwa ku akawunti eno oba waliwo ssente ezigenzeeko mwembi mumanya era bwe wabaawo bbanka kye yeetaaga okubategeeza mwenna obubaka obwo mubufuna.

EBIRUNGI BYA AKAWUNTI Y’ABABIRI 1

Ebongera okwesigaη− ηana; Emirundi egisinga abasajja bakweka bakyala baabwe ebyenfuna yaabwe naddala ennyingiza ne kiteeka omukazi mu kifaananyi ky’okutambulira mu kisiikirize nga tamanyi bba bw’ayimiridde mu byenfuna n’alemwa n’okumuyambako okumuwa ku magezi mu mbeera z’okwekulaakulanya.

Olunaku lwe muggulawo akawunti y’ekika kino obwesigwa we butandikira anti kiba kitegeeza nti buli omu agenda kuba ng’asobola okulondoola ensimbi zino awatali kwekwekerera kubanga ne bwekiba kyetaagisa kugenda mu bbanka okumanya omuwendo gwe mulinako mukikolera buli omu w’ayagalidde.

2 Eyongera ku kwogeraganya wakati w’abafumbo; Bwe muggulawo akawunti eno kyongera ku budde bwammwe obw’okwogeraganya. Kino kiggyawo olw’ensonga nti akawunti eno ebagatta kinene nnyo nga kibeetaagisa buli kadde okuba nga mwogeraganya ku biruubirirwa byammwe ne kyongera okunyweza enkolagana yammwe n’omukwano ne guggumira.

3 Egumya omukazi n’akomya okweraliikirira eby’okumuzzaako;Abakyala babeera nnyo n’obweraliikirivu nga tebamanyi ngeri baami baabwe gye basaasaanyaamu nsimbi. Ekisooka okubagenda ku bwongo kwe kulowooza nti abasajja ssente bazimalira mu bakyala b’ebbali. Akawunti eno bw’ebaawo omukyala akkakkana omutima anti abeera asobola okulondoola obulungi ennyingiza y’omusajja kuba buli lw’afuna aba alina okuteekayo ne kyongera laavu okunyweera.

4 Eyongera omukazi obukakafu bw’obwannannyini ku mwami we; Waliwo eηηombo abakyala gye batera okukozesa nti; “omwami abeera wange ng’akomyewo awaka bw’afuluma ennyumba aba takyali wange..” Naye akawunti eno ereetera omukazi okufuna obukakafu nti omusajja wuwe obudde bwonna.

5 Okuteekerateekera awamu; Ebiseera ebisinga abaami bakola ebintu byabwe mu nkukutu omukyala n’abeera ng’ali mu kisiikirizeoluusi omusajja n’ateeka ssente mu bintu ebikyamu ne zifi irayo olwo n’alyoka akomawo okunnyonnyola omukyala.

Akawunti eno emalawo embeera eyo era ne kiyamba ababiri okukulaakulana anti bawaηηana amagezi ku buli kikolebwa. 6 Kyongera ku kuwera kwa ssente amangu; Okutereka obwomu waliwo oluusi lw’oyinza okugayaala naye bwe muba mutereka wamu buli omu akubiriza munne obuteerabira era mu mbeera eno lifuuka ng’ebbanja ne kibayamba okukuηηaanya amangu ssente eziwerako.

OKUSOOMOZEBWA OKULI MU AKAWUNTI Y’ABABIRI

Abasajja tebaagala bakyala kumanya nnyingiza yaabwe; kino kye kitera okulemesa bangi okuggulawo akawunti y’ekika kino. Ensonga etiisa abasajja okumanyisa bakyala baabwe enfuna yaabwe batya okubalondoola ku nsaasaanya ekibabuzaako emirembe. Omukazi buli lw’amanya ennyingiza y’omusajja atandika okumubalirira n’okumulondoola ku buli nnusu ate ng’abasajja baba na bingi bye batayinza kulekayo kukola so ng’ate tebayinza kubitegeeza bakyala baabwe.

Ssente bwe ziwera endowooza z’abantu zikyuka. Omuntu yenna bw’aba talina ssente abeera n’enteekateeka ennungi gy’ateekawo okutuukiriza ssinga aba afunye ssente. Kino kikyuka amangu ddala ng’omuntu amaze okukwata ku ssente mu ngalo okugeza, ssinga oba tolina ssente ate ng’opangisa oyinza okusalawo okutereka ssente okugula poloti wabula bw’omala okuzikwatako ayagala poloti n’ogamba kansookere ku mmotoka. Kino kikosa nnyo era kirungi ne musigala ku nteekateeka gye mwalina nga mutandika okutereka ssente zino.

Akakwakkulizo k’okuggyayo ssente mwembi oluusi kakaluubiriza era y’ensonga lwaki abaagalana abamu akawunti ey’ekika kino tebaagala kugyesembereza. Akawunti eno ekugira okuteeka mu nkola ebintu ebimu mu bwangu; okugeza ssinga mubaako kye mukkaanyaako okukola wabula ng’omu ku mmwe mutuufu nga yandisobodde okukikola wadde omu agaanyi kiyinza okubaleetera obutatambula ne mubeera ku kimu okumala obudde obuwanvu anti atakkiriziganya na nteekateeka eriwo mu kiseera ekyo agaana okuteeka omukono ku mpapula eziggyayo ssente.

BYE MUYINZA OKUKOLA OKULWANYISA OKUSOOMOOZEBWA

Obutakyusa bigendererwa. Buli lwe mutandika okutereka nga waliwo kye muteeseteese okukola kye muba mukola era ssente bwe ziwera mukole ekyo nga temwekyusizza ate kuteeka ssente ku kintu kirala.

Okubeera abeesigwa. Akawunti eno etambulira ku bwesigwa, wabula ng’ekisinga okuba ekikulu buli omu alina okukiteeka mu mutima kubanga obwesigwa tebabukaka. Kino kitambulira wamu n’okuwuliziganya nga bwe mubaako kye muteekateeka okukola buli omu awa munne ekitiibwa n’owuliriza enteekateeka ya munno gy’alina olwo bwe bigaana ne mubaako be mwebuuzaako ababasingako mu by’ensimbi.

Okujjumbira emisomo gy’ebyenfuna n’okweyambisa abakugu. Waliwo abantu abalina obukugu mu kukwata ebyensimbi kale ssinga muba muwezezza ssente eziwera naye nga temwekakasa kyakuteekamu ssente zammwe abakugu gye bali be musobola okwebuuzaako ne babayamba obutateeka ssente mu bintu mwe zinaafi ira amangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...