TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebikendeeza amaanyi g'ekisajja Omusajja ng'ali

Ebikendeeza amaanyi g'ekisajja Omusajja ng'ali

Added 10th April 2018

Ebikendeeza amaanyi g’ekisajja Omusajja ng’ali

ABASAJJA balowooza nti balina okubeera n’amaanyi g’ekisajja buli kiseera. Era nti bye baakolanga nga bavubuka balina okubikola nga bakuze. Kino si bwe kiri. Amaanyi g’ekisajja waliyo ebiseera nga galina okubula oba ne gaba matono

. Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abafumbo yagambye nti ebikendeeza amaanyi g’ekisajja mulimu; Emyaka. Bw’okula, omubisi gwa ‘testestrone’ ogukufuula omusajja gukendeera, ekitegeeza nti obwagazi obw’omuvubuka buba bungi ate obw’omusajja omukulu buba butono. Abasajja abamu bwe bakula kye bava bakozesa ‘Viagra’ okwongera amaanyi g’ekisajja. Kino buli musajja alina okukigumira.

Kitegeeza nti oyinza oluusi okumala amangu, ate oluusi nga kizibu okwegatta emirundi emingi era n’okwegatta buli lunaku kisobola okubeera ekizibu. ‘Testestrone’ ono atandika okukendeera ku myaka 45, bw’oyingira 60 ne 70 era naawe embeera oba ogiraba. Olina okukekkereza ka ‘testestrone’ k’olina bw’oba n’abakyala abasukka mw’omu bonna basobole okufunako. Ebyokulya n’omugejjo oguyitiridde. Omusajja yenna okubeera n’amaanyi g’ekisajja, alina okuba ng’alya bulungi.

Okulya obulungi kitegeeza okulya emmere ezimba omubiri era erimu ebirungo byonna omuli ebibala, enva endiirwa, emmere ereeta amaanyi nga akawunga, omuceere muwogo, lumonde n’ebirala. Kuno olina okuliirako ebijanjaalo, ebinyeebwa, ebyennyanja, ennyama n’ebirala.

Olina okwewala ssukaali omungi ng’oyo ali mu sooda, omunnyo omungi ng’ogubeera mu chipusi era n’amasavu oba butto omungi. Buli lw’olya emmere embi yeebasa omubiri era amaanyi gaba matono. Ng’oggyeeko ekyo emmere embi ereeta endwadde nga puleesa, omugejjo, sukaali n’ebirala, ate bw’oba omunene, kizibu okubeera n’amaanyi g’ekisajja okuggyako ng’okola dduyiro kuba ayamba okukendeeza amasavu. Bw’oba n’amasavu amangi mu mubiri omusaayi gutambula katono okutuuka mu busajja okufuna amaanyi. Endwadde nga sukaali, puleesa.

Zino okusinga zikosa obungi bwa ‘testestrone’ oba omubisi ogukufuula omusajja era nga gwe guleeta n’obwagazi. Zikosa obusiwa obutambuza obusimu okuva mu bwongo okutuuka mu mutima nga butegeeza omutima okufulumya omusaayi gugende mu busajja. Jjukira nti puleesa okusinga oluusi obeera n’emisuwa emifunda olw’amasavu. Ate abalina ssukaali baba ne ‘glucose’ oba ssukaali mutono mu musaayi era obeera munafu nga n’amaanyi tosobola kugafuna.

Abalina endwadde zino okusinga bafuna obwagazi naye amaanyi nga matono. Naye tekitegeeza nti buli musajja alina puleesa oba sukaali amaanyi g’ekisajja alina matono. Ate oluusi eddagala ly’amira lye lireeta obuzibu buno. Kale omusajja yenna alina sukaali oba puleesa ate ng’ali ku ddagala alina okwogera n’omusawo ku mbeera y’okwegatta. Ebirowoozo ebingi.

Ennaku zino abantu balina ebizibu ebireeta ebirowoozo. Ebizibu bino bikwatagana n’enfuna, amabanja, okusoma kw’abaana, okulabirira abazadde, okulabirira amaka, ebizibu ebibeera mu maka ng’obutategeeragana ne munno, emirimu obutafunika oba obutabeera na mulimu. Embeera eno ereeta okweraliikirira era weesanga nga kufuuse bulwadde oba ekiyongobero (depression).

Kizibu omusajjaa ali mu mbeera eno okuba n’amaanyi g’ekisajja, kubanga obwongo buba ku bizibu bino kale kizibu okuteekamu ekirala ng’okwegatta. Obukoowu. Emirimu gy’ennaku zino gikooya ate n’embeera ekooya. Kati omusajja ng’akola emirimu egikooya bw’akomawo awaka abeera mukoowu. Bw’okoowa, omubiri oluusi kizibu okufuna obwagazi.

Ate oluusi bw’obufuna omala mangu oba amaanyi gaba matono. Abasajja abamu mu bukoowu obwo bagezaako okwegatta naye tebamalaako. Abakyala abangi. Kino nakyo kizibu newankubadde abasajja bangi tebakimanyi. Bw’oba n’abakyala abangi, amaanyi ogenda ogakendeeza. Ogenda okutuuka ew’omukyala ow’eka ng’obwagazi butono era kitegeeza nti n’amaanyi matono. Kale ng’olina abakyala bangi olina okufuna olunaku n’owummula nga tonnagenda wa mukyala mulala.

Bw’oba wabasalira ebiyungu, olunaku olusembayo luwummule, lwakuba kino oluusi kiyinza obutasoboka, kuba eno gy’ova aba ayagala akumalemu amaanyi gonna ogende awalala nga tolina. Oyinza okusalawo obuteegatta buli lunaku kubanga osonda ag’omukyala omulala. Ate bw’okula manya nti olw’obutonde amaanyi galina okukendeera, kale kekkereza amaanyi g’olina. Ekirala abakyala bo oteekwa okubamanya obulungi. Bw’omanya nti gy’ogenda wa maanyi fuba okulaba ng’omulekeramu ekikulu kutuukiriza buvunaanyizibwa bwo.

Ekirowoozo nti tolina maanyi ga kisajja. Abasajja bangi ennaku zino beeteekamu ekirowoozo nti tebalina maanyi ga kisajja. Bw’oteeka ekirowoozo kino mu bwongo era ddala n’omubiri weesanga nga bwe gulowooza era amaanyi togafuna. Kale omusajja yenna alina okwegendereza ebirowoozo by’ateeka mu bwongo. Ennaku zino abantu boogera bingi ku maanyi kati bw’owulira bino weesanga nga tolina maanyi olw’ebirowoozo bino. Weegatte ng’obwongo butadde ng’era owulira oyagala. Bw’oba owulira tolina maanyi munno mugambe agumiikirize

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...