TOP
  • Home
  • Ssenga
  • EBBALUWA YA SSENGA: Essimu etuuse okukulemesa obufumbo

EBBALUWA YA SSENGA: Essimu etuuse okukulemesa obufumbo

Added 24th April 2018

LWAKI bwe bakukubira essimu buli kiseera ovaawo n‛oleka omwami yekka ng‛ate muli ku kijjulo. Mbu waliyo abantu abakukubira essimu buli lunaku naye bw‛oyogera nabo omala kumpi essaawa bbiri nnamba.

Ate batera okukuba nga muli ku kijjulo era olekawo emmere n‛oyogera n‛abantu abo munno n‛abaana n‛obaleka nga balya.

Mwana wange okusookera ddala, okuva ku mmere nga banno balya n‛ogenda ku ssimu oba okukola ekintu ekirala kibi.

Emmere olina okugissaamu ekitiibwa era okuggyako ennaku zino ab‛edda bakimanyi bulungi nti bwe mutuula okulya emmere okuvaawo nga buli muntu amaze okulya.

Kaakati ate ggwe okuleka banno ng‛ofunye essimu n‛omalayo kumpi essaawa bbiri ng‛oyogera ekyo si kirungi n‛akamu. N‛ekirala oyogera n‛ani oyo asinga famire yo n‛omwami wo?

Omwami wo lwaki tomussaamu kitiibwa era lwaki omulaga empisa ezo? Sirowooza nti ab‛oku mulimu be bakukubira kubanga ebyawammwe ku mulimu mbimanyi bulungi biggweera ku mulimu.

Oba olina muganzi wo nga gw‛oyogera naye? Okimanyi nti ssinga musajja mulala ssinga yakukuba oba yakutuusaako obulabe?

Kubanga musajja muwombeefu naye era w‛atuukidde okwatula nga kigenze wala. Mwana wange obwo bujoozi era olina okukomya okwogerera ku ssimu nga banno balya.

N‛ekirala era si buvunaanyizibwa okwogera ku ssimu kumpi kumala ssaawa bbiri nga n‛omwami wo akulaba.

Omwami agamba nti ssinga toleka muze guno agenda kukugoba kubanga olabika olina omusajja gw‛oyagala.

Anti nti ne mu kisenge tokyatuukiriza buvunaanyizibwa, ekitegeeza nti olina akusigula.

Mwana wange nze omwami waffe mmuwagira, ddala omujooze nnyo. Essimu giveeko oba oyagala obufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu