
OKUSOOKERA ddala kulika okwanjula era kirungi nti omusajja ono agula ebya waka byonna n’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.
N’ekirala eky’okuteeka amafuta mu mmotoka gwe n’ovuga, nakyo tukimwebaliza.
Kino tekitegeeza nti omusajja ono talina kukuwa ssente naye tulina okusooka okutegeera lwaki takuwa ssente. Ekirungi naawe okola.
Ogambye ssente ze tozirabangako naye ate ezigula eby’awaka n’ezamafuta nze ndaba ssente ze.
Waliyo abakyala nga bafumbo naye nga buli kimu n’okusomesa abaana omukyala y’akikola.
N’ekirala omanyi ssente mmeka omusajja ono z’akola? Oba talina ssente zaafi ssa kukuwa?
Oba oyagala akuwe ku ssente oluusi kiba kirungi n’omanya ky’ogenda okukola mu ssente zino ate nga kigenda kugasa maka gammwe. N’okimugamba bulungi mu mukwano.
Bw’oba olina ky’oyagala okukuyamba mugambe akuyambe kuba bw’osirika naye tayinza kumanya.
Ayinza okulowooza nti buli ky’oyagala okirina naye nga tokirina. Okutwaliza awamu, omusajja ono agezaako kubanga obuvunaanyizibwa obusinga ng’omusajja abukola. Oluusi ebintu ebimu obyesonyiwa mu bufumbo.