TOP

Sserwadda weebale kunjagala n'otosalako

Added 5th May 2018

NZE Prossy Nahwera, mbeera Lubaga. Twasisinkana ne Sserwadda e Kibaale nga tugenda ku kisaawe okulaba omupiira. Yampita tutuule naye nga bwe tunyumirwa omupiira.

Wabula twali tunyumirwa omupiira eno nga bw’antokota n’okunsonseka obugambo bw’omukwano.

Okuva lwe yandaba aneeyitira bbebi n’okutuusa kati ate nze mweyitira ddadi.

Sserwadda musajja mulungi, ayogera bulungi, agaba, alina okwagala okwannamaddala ate muyiiya kuba tewali kye mmusaba wabula ndabira awo ng’andeetedde ebizigo, engoye, engato ssente z’enviri n’ebirala.

Ono ye musajja atasiba busungu era ne bwe mba nsobezza, bwe mwetondera ansonyiwa kuba awuliriza ate akuuma ekigambo kye.

Sserwadda nga twakefuna, yansuubiza okunzizaayo nsome era n’akituukiriza.

Yampeerera ne nsoma kkoosi y’enviri ne ngimala era mwebaza kuba bangi abasuubiza ebintu ne batabituukiriza.

Ennaku zino mpulira abawala abakaaba nti abasajja beekyusa anti bw’aba yaakakulaba, akuyita bbebi, swiiti n’ebirala naye ebbanga bwe liyitawo nga bikyuka era nga takyabikuyita.

Naye nneebaza Katonda nti owange si bwali. Buli kye yali ankolera era akyakikola kati myaka ebiri n’ekitundu.

Kantwale omukisa guno okwebaza Sserwadda wange nti mukwano weebale kunjagala na kunfaako era nange nja kukwagala okutuusa okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...