TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebintu abaagalana bye batya okugamba bannaabwe ne bitta omukwano

Ebintu abaagalana bye batya okugamba bannaabwe ne bitta omukwano

Added 8th May 2018

“NG’OMUKYALA yenna waliwo ebintu bye neegomba okubeerako nabyo kyokka nga sisobola kubyetuusaako ate nga n’omwagalwa wange ntya okubimusaba kubanga ayinza okulowooza nti mukuula.

Obw’olumu ηηenda ne nneebuuza oba nga ye tasobola kubeera nga basajja banne abalowooleza ku baagalwa baabwe”, bwatyo Maureen Namukasa ow’e Kasubi bw’anyumya.

Embeera eyeefaananyirizaako bw’eti esaasaanidde mu by’omukwano gw’abantu abawera era ng’olwokuba nti babeera batya okwogerezeganya ku nsonga eyo nga balowooza nti kiyinza okusaanyaawo enkolagana yaabwe, kibanguyira okugeraageranya abaagalwa baabwe n’abantu abalala ekintu ekitta omukwano.

Rebecca Kiziiri Mayengo abudaabuda abaagalana e Bukoto annyonnyola nti obuzibu bwonna mu mukwano buviira ddala ku butabeera mwerufu eri munno mu kiseera nga muli mu mukwano.

Ono annyonnyola nti w’osalirawo okutandika enkolagana ey’omukwano ne munno, wandibadde ng’ate okutya okukendeeza okusobola okukwatagana obulungi.

Ono annyonnyola nti buli kimu kitandikira ku kubeera ba mikwano era nga kino wadde abaagalana abasinga bakibuusa amaaso, guno gwe gwandibadde omusingi gw’enkolagana y’omukwano ey’obuwangaazi.

ENSOBI ABAAGALANA ZE BAKOLA EZITTA OMUKWANO

Waliwo ebintu bingi abaagalana bye bakola nga balowooza bakuuma enkolagana yaabwe kyokka olw’okuba nti bisigala bibaluma mu mitima gyabwe, bakomekkereza ng’ate basaanyizzaawo enkolagana eno.

Kuno kuliko; Okutwala eky’okutya munno ng’okumuwa ekitiibwa. Mu kino nno, bangi batuuka n’okukola bye bataagala olw’okuba batya okuwakanya oba okuluηηamya abaagalwa baabwe mu kulowooza nti munne ayinza okumutwala ng’amuyisaamu amaaso.

Okusirikira ebibaluma. Kino abasinga balowooza nti kigonjoola bingi kyokka ssinga kikolebwa ekiseera ekinene, bakomekkereza beekyaaye era mu ngeri eno, enkolagana yaabwe n’esaana wo.

Okutya okuyiiyiiza omukwano nga basuubira nti omwagalwa waabwe ayinza okutandika okubalowooleza okwenda.

Okubeerako kye basaba abaagalwa baabwe mu kulowooza nti bajja kutunulirwa ng’abalina ebigendererwa ebirala.

Bano oluusi ne bwe bafuna obuzibu, basala amagezi gonna okubwetaasa awatali kunyenya ku baagalwa baabwe.

Okukweka ebikwata ku famire zaabwe; Abantu abamu tebayogerera ddala bikwata ku famire zaabwe, ekireetawo okwekengera era ekivaamu mukwano kufa. Okukweka abaana be wazaala.

Waliwo gw’ogamba naddukirawo naye ate bangi be tulabye nga bakigumira, omukwano ne gugenda mu maaso.

ENSOBI ZINO ZITTA ZITYA OMUKWANO?

Mayengo annyonyola nti ensobi zino abamu bayinza okuzitunuulira ng’ekitono kyokka nga kino bw’obeera okigayaaliridde kisobola okuvaako omukwano gwammwe okusaanawo mu ngeri zino; Zitta ekitiibwa n’okwesigaηηana bulyoomu ky’aba awa munne olw’ensonga nti batandika mpola okugeraageranya oyo gwe baalina n’abalala be baalaba ng’abasinga. Ezimu ku nsobi zino zizaala emize egy’obwenzi n’okwegomba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.