TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi omupangisa yanteeka mu bikemo

Omukazi omupangisa yanteeka mu bikemo

Added 22nd May 2018

Omukazi omupangisa yanteeka mu bikemo

 Omubiri gw’omukyala gulina engeri gye gutengula omutima gw’omusajja nga bw’olaba ono.

Omubiri gw’omukyala gulina engeri gye gutengula omutima gw’omusajja nga bw’olaba ono.

BW’OBA topangisangako ku mizigo oba amayumba agali mu kikomera oyinza obutamanya bikemo bibeerayo! Mu myezi omusanvu gye naakamala ku nju za Nakayaga ku Zzana waliwo omuwala oba kale tumuyite mukazi wa mupangisa munnange ansudde eddalu!

Yatandikira ku kutuula mu ngeri ya kutega kamasu ku lubalaza lw’ennyumba kwe bapangisa ng’eno eri ku mabbali g’eyaffe gye tupangisa ne maama w’abaana ababiri be tulina.

Bw’obeera ku mulyango gwaffe olengera bulungi ekikolebwa ku ludda luli. Omukazi ono ali mu myaka 22 ng’ayitibwa Allen bw’atayambalanga kasikaati kampi ng’alina ebiteeteeyi bibiri bye yasuulangamu okuli siriiti empanvu nga bw’atuula wabweru ku lubalaza, amaaso nga tegayinza kwewala kutunula ku bithambi ebyawundibwa obulungi oluusi nga n’akawale munda kalabika.

Nasooka kwebuzaabuza ng’atabiraba naye olumu amaaso gaasisinkana ate ne nkola ensobi ne nzita ku liiso olwo n’amwenya. Olulala yasuulangamu ka bbulawuzi ka musala nkwawa nga kalaga ebbeere erikyesimbye obulungi ku kifuba kumpi nga kyenkana kabikka nnywanto. Mu butuufu ekiseera kyatuuka ne ntwalibwa mu kukemebwa olwo nange nga ntandise okunyumirwa okutunuulira ebyengera bya Allah. Okusoomoozebwa kweyongera bwe twasisinkanyanga amaaso ekyawerekerezebwanga okumwenya.

Iga ng’annyonnyola.

 AMANYA ESSIMU YANGE

Ekyeso we kyaggweeramu olumu yansaba mugulire ku YAKA (ntegeeza gano amasannyalaze ag’okugulira ku ssimu) nga kano ke kakodyo mwe yafunira ennamba ya ssimu yange kuba mu kusooka twakomanga ku kubuuzaganya na buli omu kwebaza munne mirimu gy’akoze.

Amasannyalaze gaali ga 5,000/- era nzijukira bulungi zaali mu yuniti nga 7. Ennamba ya YAKA, UMEME gy’eweereza olwagifuna n’ansaba ngimuweereze ku ssimu ye mu mesegi nga bw’anziriza ne 5,000/- ze nnali nsasudde era bino byonna byakolebwa nga yenna ajjudde akamwenyumwenyu ku matama.

Teri kinyumira bakazi abasinga obungi nga okubawa oba okubatonera, amazima Allen nnamugamba ssente azireke (jjukira zaali 5,000/- zokka) olwo n’ansiima bya nsusso. Engeri maama w’abaana gy’ali musawo nga yeekozesa yekka mu Drug Shop etunda eddagala erijjanjaba abantu, awaka yavangawo ku ssaawa 3:00 ez’oku makya olwo n’adda kiro ku ssaawa nga 5:00 anti mbu basinga kukola nga buwungeera n’ekiro ng’abantu bannyuse ku mirimu.

Nange engeri gye ndi mu kkampuni nga tukola mu mpalo, olumu nga ηηenda lwaggulo ate olulala nga nkeera bukeezi, lwe nasiibanga awaka we nagwiranga mu butego bwa Allen. Akawungeezi lwe namugulira amasannyalaze, mbeera nnakatuuka ku mulimu kwe kufuna obubaka ku WhatsApp nga Allen anneebaza okubeera omusajjaow’ekisa, alina ‘care’ era nga bwe yeesiimisa be mbeera nabo! Yawereekerezaako eddoboozi nti ‘Mukwano… Mukama akumpeere ebirungi byonna by’omusaba ne bye weegomba okufuna…’. Nnatwala ekiseera nga nkyakasoma nga bwe nneebuuza eky’okuddamu era oluvannyuma lw’essaawa nga nnamba ng’obwongo ‘butalazze’ naddamu nti; ‘Thanks for the appreciation….. akawungeezi akalungi.’

NATUUKA NE NTENDEWALIRWA Okuva olwo yakeeranga kumpeereza bubaka obunjagaliza amakya amalungi, olulala ng’ambuuza lwaki nsirika nnyo. Mu butuufu nnali ntya omulenzi we okutugwamu ssinga neetantala okutandikaomukwano ate ne maama w’abaana okutugwamu.

Wabula sitaani nga yeesomye okubakozesa ensobi, olumu mbeera nzira awaka akawungeezi ne nsisinkana ne Allen nga naye adda waka kwe kunkwata ku mukono ne tulinnya takisi yeemu. We twaviira mu jaamu w’oku Shoprite okutuuka ku nkulungo e Kibuye ffembi twali twayiddeyidde dda anti twanyumyanga nga buli omu akwata ku munne.

Ebithambi n’ebbeere ebyandeetera okukemebwa ku luno na-funira ddala omukisa okubikwatako kuba we twatuukira e Kibuye ng’obudde buzibidde ddala! Twayawukana tumaze okukola pulaani ya kusisinkana mu mukwano era ne kituukirira olwa buli omu engeri gye yali yeesungamunne. Ensisinkano zaakolebwa enfunda eziwera.

Ekizibu oba ekirungi Allen amanyi ‘waaka’ w’okugaba ebyalo, okuggula ekkubo era omuteekateeka naye bw’akuteekateeka. Kati bwe kituuka mu musawo, ng’amba maama w’abaana akomawo nga kumpi buli kiseera akaaba obukoowu, ayombera obutakyamanya kumukwata bulungi olwo omutima gwonna ne gudda eri Allen.

Olumu nnamubuuza nti watya nga bba atuguddemu, yadda mu nseko nti si mwana muto. Wabula Dan Ddamulira akola mu Nana Counselling services ng’abuulirira abafumbo n’okutebenkeza abaagalana agamba nti okukemebwa okw’engeri eno kubeeramu ebizibu bingi.

Amaka gayinza okutabuka ssinga abaagalwa baabano abakola obwenzi bakizuula. Agamba nti abakazi bombi bayinza okulwana, okwetema oba okweyiira amazzi agookya anti nga balaba buli omu afuuse muggya wa munne. Ate bwe baba basajja na basajja nabo bayinza okwetema oba okwetuusaako obulabe bwonna.

Agamba nti abakola obwenzi mu ngeri y’okwebbirira tebatera kugenda ku musaayi kwekebeza bulwadde nga siriimu. Bayinza okwesanga nga beesiize akawuka kuba emirundi egisinga bakozesa kondomu emirundi nga giigyo oluvannyuma ne balumbirawo. Embeera eyinza okuva mu kino kwe kufuna embuto n’okuzaala ne bazaala abaana ebbali kyokka nga bali mu bufumbo.

Ddamulira awa abakazi amagezi okufi ssizaawo baganzi baabwe obudde naddala obw’omu kisenge n’obutekuluntaza oba obutakaluubiriza bannaabwe mu kitanda. Agamba nti embeera y’ebyenfuna bwe yeeyongedde okukaluba n’abakazi abamu okwagala okwegomba ennyo, bakola kyonna ekisoboka okuwangula emitima gy’abasajja kuba abasinga batendewalirwa mangu.

Agamba nti mulimu abakazi ababeera baagala omukwano naye abasinga babeera baagala nsimbi okukola ku bimu ku byetaago bye babeera nabyo.

Obwenzi, Ddamulira agamba nti ebiseera ebimu buva ku kuvuganya abakazi kwe babeeramu ku nju z’abapangisa omuli okwambala n’okwetuusaako ebyetaago ebirala.

Nti ate waliwo abakazi abakola ensobi y’okunyumya ku baagalwa baabwe naddala ku nsonga z’omu kisenge nga bwe kubeera kubawaana nga bwe bali abayitirivu olwo bannaabwe ne beegomba okubeerako nabo. Ddamulira alabula nti okunyumya ebikolebwa mu kisenge kya mutawaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...