TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Balo mmufumbire emmere kubanga agigula

Balo mmufumbire emmere kubanga agigula

Added 23rd May 2018

MWANA WANGE simanyi oba obuvunaayizibwa bw’omukyala mu maka obumanyi bulungi. Omukyala yenna alina obuvunaanyizibwa okulaba ng’omwami n’abantu abali mu maka abafumbira emmere ne balya.

Omusajja y’alina okuleeta emmere ate omukyala n’agifumba.

Ennaku zino abakyala abasinga bafumbisa lugalo naye era abantu mu maka balina okulya.

Kati bw’osalawo nti baana bo n’omwami wo balina okulya, ‘take away’ buli lunaku kubanga toyagala kufumba ate ng’olina n’omukozi awaka gw’osobola okugamba n’afumba kyewuunyisa. ‘Take away’ oba obumpwakimpwaki, si mmere nnungi.

Erimu butto mungi ate ng’awaka oyinza okufumba emmere ennungi eyamba ab’omu maka go.

Sigaanyi abakyala bangi ennaku zino bakola naye osobola okufumbisa olugalo naye olw’olumu n’ofumba emmere.

Abakyala bangi ennaku zino balya ‘rolex’, ‘take away’ ne ‘chips n’enkoko. Naye embeera eyo eyavuwaza amaka kubanga ssente ez’emmere gy’ogula zibeera nnyingi okusinga emmere gy’ofumbye awaka.

Ekirala bwe bakufumbira tomanya ky’olya, kale ebiseera bingi weesanga nti olya by’otomanyi oluusi ne kivaamu n’okukulwaza.

Okuliira awamu kuleeta obumu mu maka n’okuyigiriza abaana empisa z’okuliira mu bantu. Bw’oba mufumbo, tolina kuyisa balo nga muwuulu.

Alina okulya emmere awaka ate ng’olumu gwe ali mu ffumbiro. Omusajja ayinza n’okutandika emize olw’emmere embi oba emmere gy’atalaba waka ate ng’agigula.

Okimanyi mwanawange nti oky ali  na omukisa ntiomwami waffe akyagula emmereawaka. Kubanga abaami abamuobwo obuvunaanyizibwa baabuvaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...