
Nkola mirimu gya bwa nnakyewa ne minisitule y’ebyobulamu wano mu ggwanga nga ffe twabakana n’ekikwekweto eky’okumanyisa eggwanga ku kirwadde ky’okutonnya mu bakyala ekya fi situla.
Nazaaalibwa mu famire y’abaana bataano nga nze mukulu. Bwe nnali ntuuka mu S3 bazadde bange ssente ne zibaggwaako.
Ng’omuwala omukulu eyali ayagala ennyo okusoma nasalawo okwesogga ekibuga ne ntandika okukola ogw’okwera mu Kampala nga nfuna 90,000/- buli mwezi. Wano nafuna essomero eryanzikiriza okusoma nga bwe nkola.
Bwe mmaliriza S6, nali mpeza emyaka 17, nafuna omusajja eyali ansinga emyaka 10 n’omusobyo era yansuubiza okumpeerera ku Yunivasite naye nga mbeera naye nga mukazi we. Nakkiriza kuba nnali njagala kuba munnamawulire.
Yanfunyisa olubuto ku mulundi ogwasooka okwegatta naye era wano nali sisobola kugenda ku ssomero olwo n’ansubiza mmale okuzaala nzireyo nsome.
Okuzaala omwana asooka kyankosa kuba amagumba gaali mato era mukama yazza bibye okumuzaala.
Omusajja yanzizaayo ne