TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nasuula layini yange ey'essimu lwa muwala kunnemerako

Nasuula layini yange ey'essimu lwa muwala kunnemerako

Added 8th June 2018

NZE Ben Klibo, mbeera Kitintale. Nnina emyaka 22. Nafuna omuwala nga bamuyita Betty ng’ abeera ku kyalo kye kimu naffe era ng’amazzi tugakima mu kifo kye kimu.

Wano we twesanganga naye buli lunaku nga musenera amazzi naye nga simugambangako kigambo kyonna nti mwagala.

Ebiseera ebyo nnali nkola wa mugagga era nga nnina enkoko ze nnunda nga zibiika amagi ge twatundanga buli lunaku era nga nze ngabala.

Olumu nawandiika akabaluwa ne nkasuula mu kkubo nga ndowooza nti anaakalaba ng’ ayitawo naye teyasooka kukalabirawo era oluvannyuma ennyo ng’ajja okusena amazzi yakalonda.

Nnali mpandiiseeko amannya gange n’agage nga mutegeeza nga bwe mwagala ennyo.

Omuwala ono yajja n’abimbuuza oba akabaluwa kano nkamanyiiko nze ne mbyegaana kubanga nnali ntegedde nti tekimusanyusizza naye oluvannyuma nakkiriza era ne mmusaba ansonyiwe.

Yansonyiwa naye n’annenya lwaki nnali nkoze ekintu bwekiti era nti ssinga abeewaabwe bakalabye byandibadde bizibu gy’ali.

Twayagalana okumala akaseera, omuwala ono n’atandika n’okujjanga ewaffe era wano baaba bwe yakimanya n’amuyombesa nnyo naye oluvannyuma n’amwesonyiwa.

Ekyasinga okuntabula ku muwala ono kwe kutandika okuwulira ebigambo nti yali ayagala mukwano gwange ne sisooka kukkiriza naye namala ne mbeekwatira.

Omuwala ono mu kifo ky’ensonyi ye yasunguwala busunguwazi nange ne mmwesonyiwa. Wabula omuwala ono yalaba mmuviriddeko ddala yasalawo okulemeranga ku ssimu yange ng’ akuba naye nze nga sigikwata era kino kyampaliriza n’okusuula layini yange era ne ngifi isiza ddala.

Yatuuka ekiseera nga takyampuliza n’anvaako olwo nange ne muwona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...