TOP

Omusajja ayagala kunzita

Added 30th June 2018

OBUFUMBO bwe nnayingira nga ndi musanyufu, sikyayagala na kuwulira ayogera ku kigambo bufumbo olw’embeera gye mpitamu.

Nze Sophia Najjuko, 35 nga mbeera Nakibizzi mu Ggombolola y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Mmaze emyaka 19 mu bufumbo ng’omusajja ali ku ddaala lya kaputeeni ng’akolera mu bbalakisi y’e Bombo. Mu kiseera kino anfuukidde ekizibu ayagala kunzita na masasi.

Omusajja ono yansuulawo n’abaana basatu be twazaala, n’agenda olwo buli kimu nga nze nkivunaanyizibwaako omuli okulabiraba abaana n’awaka.

Kino nnalaba kinsusseeko, kwekugenda mu bbalakisi ne muloopa okutusuulawo olwo kwe kutandika okusasulira abaana fiizi naye nga nabyo byampaka n’okutuusa kati azisasula naye ku bukwakkulizo bwa bakama be.

Bwe yansuulawo, yafuna omukyala omulala nga muserikale munne era babeera bombi mu bbalakisi e Bombo.

Ekiseera kyatuuka omukyala ono n’atandika okunkubiranga essimu ng’ahhamba muviire mu nju ye nti ye agiyingire n’omwami we.

Ebbanga libadde liyise ng’omusajja ono tajja wange wabula okuva omwaka guno lwe gwatandika, anfuukidde ekizibu.

Yasooka n’ankubiranga essimu ng’ahhamba nti bwe siva mu nju nnindirire kukubwa masasi.

Omwezi ogwokubiri bwe gwatuuka, yajja n’anfulumya mu nju nga bw’ahhamba nti nsussizza obwenzi era hhende ntandike okubeera n’abasajja bange era nti buli kyenkola abantu bakimugamba.

Bwe yatandika okunkubira essimu ng’angobaganya mu nju, nagenda ku Poliisi y’e Njeru ne nzigulawo omusango ku fayiro nnamba 66/19/02/2018, bwe navaayo ne bamukubira nti ndi waka, nagenda okulaba ng’omusajja atuuse n’abaserikale b’e Njeru gye natwala omusango.

Mu kifo kya poliisi okumpita tuwoze, bangoba bugobi mu nju awatali kunnyamba.

Kati mbeera wa muliraanwa waffe n’abaana baffe ababiri yabatwala ne nsigaza omukulu yekka gwe mbeera naye.

Sikyalina mirembe kuba antumira abantu nti bwe simwesonyiwa ajja kunkuba amasasi anzite.

Simanyi oba ali ku kakodyo ka kwagala kutunda maka gange kubanga yatandise n’okunoonya abaguzi.

Ekinnuma buli kimu twakikola ffembi mu kifo ky’okundeka mbeere ewange n’abaana bange kubanga nali nakimanyiira nti yagenda, agasseeko okungobaganya.

Nsaba ab’obuyinza bannyambe kubanga omwami ono yeekobaana ne poliisi y’e Njeru ne bangoba ekiraga nti yabawa ssente ankole ky’ayagala. Asobola okunkwatirako nkubira ku ssimu eno, 0754699436.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...