TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Maama w'abaana aliko empewo z'ekika kyabwe

Maama w'abaana aliko empewo z'ekika kyabwe

Added 20th July 2018

SSENGA weebale emirimu. Nnina omukyala aliko ebyewaabwe. Mu ntandikwa senga we yakiηηamba era ne kitaawe naye nalowooza nti tebamwagaliza. Kati omukyala ono muzaddemu abaana babiri naye ekiseera kituuka ng’awaka tasobola kubeerawo. Era okwegatta kwa buzibu kubanga nnina okwegatta naye ennaku ssatu zokka mu myezi ebiri. Mu kusooka si bwe kyali naye kati ndaba nnemeddwa. Abaana tebamumanyi kubanga awaka abeerawo wiiki emu mu myezi esatu. Yaηηamba nti bwe bulamu bwe era tasobola kukyusaamu, era n’aηηamba nti nnyinza okumuleeka kubanga ebyekika bye bisinga obufumbo. Nkoze ntya? Abaana bange tebaafune obuzibu?

Ekirungi ssenga w’omuwaala yakugamba naye anti oluusi omukwano bwe guba mungi ebintu nga bino oyinza obutabiraba.

Omuntu bw’abeerako ebyewaabwe embeera eyinza okubeera bwetyo era abasinga tebatawaana kugenda mu bufumbo.

Anti ebintu ebyo bisobola okumufuga. Mu butuufu ono newankubadde wamuzaalamu abaana embeera zaalimu si za bufumbo.

Ekirungi yakugamba nti osobola okumuleka era naawe okiraba embeera egenze ekyuka era kati takyali mukyala wo.

Eky’abaana sirowooza nti bayinza okufuna obuzibu kubanga si ba kika kye. Naye oli waddembe okwogera ne ssenga we omubuulire obuzibu bw’olimu. Era ng’abazadde kyemmanyi bakulinda obabuulire embeera gy’oyitamu naye nabo bakimanyi.

Sirowooza nti kigenda kuba kizibu okuva ku mukyala ono. Naye ne bwe muba mwawukanye tomugaana kulaba baana be kubanga ekyo kikulu nnyo eri buli muzadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...