TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu ebiraga omukwano ogutandise okusereba

Ebintu ebiraga omukwano ogutandise okusereba

Added 1st August 2018

NZE Jeniffer Lunkuse 30, mbeera Kasubi. Tumaze ne baze emyaka 10 wadde tetuli bagatte ba mpeta, era tulina abaana basatu.

 Abaagalana nga bali mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko. Bwe muba mwacakalanga mwembi wabula munno n’atandika okukwebalama ng’omanya nti yandiba ng’omukwano gy’oli tegukyaliwo.

Abaagalana nga bali mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko. Bwe muba mwacakalanga mwembi wabula munno n’atandika okukwebalama ng’omanya nti yandiba ng’omukwano gy’oli tegukyaliwo.

Mu kusooka munnange ng’anfaako era ng’ankubira ku ssimu okumanya bwendi.

Okumanya laavu yali mu ggiya nnene, ng’olumu atuma owabodaboda n’andeetera n’obulabo, naddala enkoko kuba ng’amanyi njaagala nnyo. Mu kumusanyusa nange nga nkola by’ayagala.

Okugeza nali mmanyi nti tayagala bicaafu era nga nfuba okuyonja awaka, nange nga mba muyonjo.

Wabula bwe nazaala abaana babiri twatuuka ekiseera n’akyuka nga tafaayo kumanya bikwata ku b’ewaffe, tamanya oba ndidde, eyakomangawo n’anyuma nga takyanyega.

Yatandika okudda nga bugenze ekyayongera okunkakasa nti yandibaayo n’omukazi omulala.

Wabula olw’okuba nali mwagala, nga saagala kumufi irwa, nasooka ne nnoonya awava ekizibu.

Kino kyannyamba okwezuula ne manya ebintu bye nali sikyamukolera, ne nziramu okubikola. Awaka naddamu okuyonjaawo Mu kusooka nga ssaawa 1:00 ensanga nkomyewo awaka, wabula nali ntandise okukomawo ku ssaawa 4:00 nga musangawo. Kino nakyo nakisazaamu.

Kuno nagattako okwerabirira, era ne munnange n’akyusa, era obufumbo bwaffe ne butambula bulungi.

Ssinga saayanguwa kwetunulamu obufumbo bwali bugenda kunva mu ngalo nga mbutambuzzaako emyaka musanvu gyokka. Obufumbo bwonna bulina okubeerawo nga mwembi muli ku mulamwa gwe gumu.

Ssinga omu ava ku mulamwa kiba kizibu okuwangaala. Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abaagalana yagambye nti ebintu bingi ebivaako omusajja oba omukyala okukyawa munne era obufumbo bwabwe ne bugenda nga buseebengerera mpola, munno ne bamukutwalako wadde nga wali asobola okukitaasa.

Mukisa yagambye nti omukyala oba omusajja kyangu okumanya nti munno anaatera okukuva mu ngalo. Bino bye bimu ku bintu abakazi bye bakola ebiraga nti obufumbo tebakyabutwala nga kikulu.

1 Obutalabirira bba. Buli mukazi akimanyi nti ateekeddwa okulabirira bba. Omukazi bw’aba abadde akulabirira wabula n’addirizaamu, kandiba akabonero nti alina ekimukanze oba nga bba takyamwagala. Okugeza omukazi ateekwa okufumbira bba n’okumujjulira, okukakasa nti engoye ze njoze era ngolole n’okuzitegeka, okulongoosa engatto ze, sitookisi, obutambaala ne kalonda yenna amukwatako. Omusajja bw’olaba nga munno takyabikukolera nga ggwe weenoonyeza by’onooyambala, okweyoleza n’okwegololera, okwekubira engatto eddagala n’ebirala ng’ebyo, ng’omanya nti munno takyakutwala nga kikulu mu bulamu bwe, era n’obufumbo takyabussaamu kitiibwa.

2 Okusojja abantu b’omusajja n’okubagoba awaka. Abantu bwe baba nga bakyayagalana, kizibu okulaba abantu ba munne ng’ekizibu. Bw’olaba nga munno alaga nti abantu bo tabeetaaga, yandiba nga naawe kennyini takyakwagala era nga n’obufumbo takyabwetaaga.

3 Emirembe okubula awaka. Buli musajja ayagala awaka awali emirembe. Bw’olaba nga munno buli lwe mubeera awaka muba mu kuyomba manya nti obufumbo bwammwe bwolekedde olusozi oluyinza okubalema okulinnya n’okuvvuunuka.

4 Obutafaayo kubikka musajja. Omulimu guno gwa mukazi, era ne bwe muba mumaze okwesanyusa buvunaanyizibwa bwa mukazi okubikka bba afune ebbugumu. Omukazi bw’aba ng’ensonga eno yali agifaako, wabula n’abivaako ng’omanya nti waliwo omutawaana.

5 Obutafaayo kulongoosa bba oluvannyuma lw’okwesanyusa. Kano kabonero ka nkukunala akalaga nti omukazi takyakutwala nga nsonga nkulu mu bulamu bwe, era n’ebyakaboozi takyabirabamu makulu kuba omukwano guba guseebengeredde.

6 Obutakooloobya luyimba lwa ggwanga. Kino bw’aba yalinga akikola mu ngeri ennungi era enyumisa omuzannyo, wabula n’abivaako kiraga nti omukwano wakati wammwe gwakendeera era bw’otoofeeyo kukinogera ddalaga guyinza okusaanirawo ddala.

7 Bw’abaako w’alaga omwami tamutegeeza, ate bw’aba amutegeezezza, akimugamba ayambala oba ng’afuluma. Kano kaba kabonero akalaga nti tamulinaako buvunaanyizibwa era tekimwetaagisa kusooka kumutegeezaako gy’alaga.

8 Osanga ebintu eby’ebbeeyi awaka ate ng’okimanyi nti talina ssente zibigula. Omukazi akyalumirirwa obufumbo bwe era ne bba ng’amwagala tayinza kuleeta kintu waka nga tebasoose kukyogerako. Ne bwe kiba kimuweereddwa asooka kwebuuza ku bba oba akikkirize. Omukazi bw’atuuka ku ssa ly’okugula oba okuleeta mu nnyumba byonna by’ayagadde ng’omanya nti waliwo obuzibu.

EBIRAGA OMUSAJJA AKOOYE OBUFUMBO

Mukisa yagambye nti waliwo ebintu abasajja bye bakola ebiraga nti takyatwala mukazi we ng’ekikulu.

1 Tafaayo kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe omuli okulabirira abaana n’amaka. Oluusi abasajja bwe batuuka mu mbeera eno abakazi bakitwala nti osanga alina awalala w’atwala ssente, so ng’oluusi tewabaayo, naye ng’awulira yeetamiddwa munne.

2 Tafa ku mukyala we. Omusajja alina okutetenkanya okukola ebiraga omukyala nti afaayo, wabula omusajja bw’atandika obutagitwala nga nsonga, kiraga nti omukwano gukeeye, era omukyala bw’atakifaako n’obufumbo buyinza okusaanawo.

3 Obutakweka bwenzi. Wadde abasajja bangi abenzi, naye omusajja afaayo eri mukyala we era ng’amussamu ekitiibwa afuba okukweka obwenzi bwe. Omusajja bw’atandika okulaga mukazi we baganzi be n’okumunyumiza emboozi ezibawaana kiraga nti aba takyafaayo ku mukwano n’obufumbo bwabwe.

4 Obutafaayo eri abantu b’omukyala. Kino akikola kuba aba omukazi yamwetamwa era nga n’ebimukwatako takyayagala kubimanya.

5 Tafaayo kuyiiyiza mukwano gwabwe, era ne mu kitanda abeera atuusa kuwalo naye nga temuli bisoko bya mukwano. Ekirala, akaboozi takatwala nga kikulu era nga muyinza okumala ebbanga nga temukanyumizza, naye nga teyeemulugunya.

6 Emmere y’awaka agizira oba afuba okulaba ng’ekiseera w’akomerawo okuva ku mulimu muba mwamaze dda okulya ate n’emmere tagisaba, wadde nga y’aba agiguze.

7 Ebiseera by’abera awaka bisalika. Eyasiibangawo ku Ssande olwo atandika okuteekako pulogulaamu, bw’aba wa ofiisi n’akubuulira nga bwe baamulagidde n’okukola ku Ssande.

8 Ebintu bye mwali mukola mwembi biggwaawo. Bwe muba mwagendanga mwembi mu ssinzizo buli omu atandika okugenda yekka, eyakutwalangako mu mmotoka ng’agenda okukola kati akuwa ssente olinnye takisi nga yeekwasa nti ojja kumukeereya. Kino akikola kuba aba takyayagala nnyo kukweriraanya.

9 Emboozi awaka ekendeera. Abasajja be batera okutandika emboozi olwo omukyala n’ajjuuliriza. Naye omusajja bw’akoowa omukyala emboozi ekendeera ng’olumubuuza we bikoma.

10 Engoye okubula awaka n’okulaba z’otomanyi. Omukyala bw’olaba ng’engoye za munno ezimu tokyaziraba, ate ng’endala weekanga oziraba naye nga tomanyi lwe yazigula kiraga nti waliwo gy’asooka, olwo ate n’ayambala endala z’ajja nazo.

11 Akomya okukubuulira ebifa ewaabwe. Okugeza bwe baba bafi iriddwa obiwulirira mu ηηambo nti baaziise oba nti eriyo omukolo gwe bategeka.

12 Amateeka awaka gakendeera kuba aba takyafaayo ku ngeri ab’awaka gye beeyisaamu kubanga biba tebimukwatako.

13 Bw’aba wampeta agireka waka ng’oluusi yeekwasa nga bw’etekyamutuuka, olwo ng’agyambala lw’ayagadde.

BY’OSOBOLA OKUKOLERA EMBEERA ENO

Mukisa yagambye nti bwe mwesanga mu mbeera nga zino, kikulu buli omu okusooka okumanya obuvunaanyizibwa bwe, omusajja n’amanya nti omukyala alina kumuyisa mu ngeri bw’eti era n’omukyala bwatyo.

Muyinza okukozesa abantu abalala be mwesiga ssinga embeera ebasajjukako kuba muba temukyasobola kuzeemalira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...