
Yagasseeko nti awuliriza emboozi gy‛onyumya n‛omukazi oyo gw‛okwana ng‛olengezza maama w‛abaana bo ali awaka.
Mwana wange oba oyagala okuwasa osobola okuwasa kubanga gw‛omanyi obuvunaanyizibwa bw‛olina era omanyi ensonga lwaki owasa.
Naye ky‛olina okusooka okumanya nti bw‛oba owasa oba towasa obuvunaanyizibwa bw‛abaana b‛ozaala bubwo. Tosobola kulekera mukyala buvunaanyizibwa kubanga akola.
Ekirala, omukyala ow‛awaka bw‛oba omukyaye mwesonyiwe tomuvuma.
Okukyawa omuntu kyabulijjo naye kirungi okusigaza omukwano n‛omukyala gw‛ozaddemu abaana era ne bw‛aba muntu mulala yenna okwawukana obubi si kirungi.
Abasajja abamu baagala okwawukana obubi kubanga tebaagala buvunaanyizibwa ne baleka abakyala nga batawaana n‛abaana nga balinga abataliiko kitaabwe.
Kimanye nti omulembe gw‛okukuba abakazi gwaggwaawo dda, era omusajja akuba omukyala ennaku zino bamwewuunya kubanga wabaddewo okusomesa kungi nga babuulirira abasajja obutakuba bakyala. N‛ekirala ssinga omukyala naawe akukuba owulira otya?
Ekirungi osobola okupangisa ennyumba endala n‛owasa. Wasa naye omukyala ono n‛abaana baleke mu mirembe.
Obuvunaanyizibwa tobwerabira abaana babo era olina okubalabirira.