TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebiremesa abanoonya okuva ku mudaala

Ebiremesa abanoonya okuva ku mudaala

Added 14th August 2018

Ebiremesa abanoonya okuva ku mudaala

“MWANAWATTU nkubuulireko, okunoonya omusajja anoonyezza omulimu asinga….” Eyo y’eηηombo omukyala omu anoonyezza omusajja okumala emyaka kati etaano nga tamufunanga gye yagunjaawo.

Betty Namugwanya 30, embeera y’okunoonya omusajja agamba kwe kumu ku kusoomoozebwa kw’akyasinze okufuna mu bulamu bwe. Annyonnyola nti; mu kiseera we namalira okusoma nali sinnafuna birowoozo bya kufumbirwa ng’ebiruubirirwa byange bya kufuna mulimu nkole ssente zange olwo ηηende okufumbirwa nga nnina ke neekoledde.

Mu kiseera ekyo abasajja bankwananga wabula nga sitawaana kubawa budde kubanga nalaba nga bayinza okuyingirira ebiruubirirwa byange ne bannemesa okubituukiriza. Oluvannyuma lw’emyaka mukaaga natandika okulowooza ku ky’okufumbirwa. Abasajja baali bakyankwana abawera kwe kusalawo nfuneyo omu mwetegereze.

Ono twatambula naye okumala omwaka gumu era nga n’ewuwe ηηendayo ku wiikendi okutuusa bwe nasalawo ηηende mu maka ge nfumbe. Wano we namanyira nti bulijjo nali mbala birala nga ne munnange abala bibye.

Lwe namugamba nti njagala tukole enteekateeka z’okubeera ffembi nga tuyise mu mitendera omuli okukyala olwo antwale ng’abeewaffe bamutegedde, awo wennyini we yakyukira. Yatandika okukyuka mu mbeera ze eyakubanga essimu emirundi etaano olunaku ng’aweereza mesegi ku ssimu olulala nga mmala kumusindikira olwo n’ajjukira okunziramu.

Nalaba sikyamutegeera kwe kumubuuza ekyatuukawo era kye yaηηamba kyali kimu nti tusooke tulindeko eby’obufumbo kuba yali alina enteekateeka egenda ebweru w’eggwanga okweyongera okusoma.

Kino kyankuba wala kuba yansuulako kisuule era yagenderera mpola n’anneesalako n’essimu zange nga takyazikwata, kwe kumwesonyiwa. Mu kiseera kino nali mu bwetaavu bw’okufumbirwa kwe kufunayo omusajja omulala. Ono naye yali wa buvunaanyizibwa mu ndabika era ne tutambula bulungi.

Yajjanga ewange n’ankyalirako era nga buli kye musaba akimpa. Twamala emyezi nga mukaaga kwe kumusaba antwaleko ewuwe ndabeyo. Yaηηamba nsooke ngumiikirizeemu nti waliyo maama we yamuggya mu kyalo n’amuleeta okumujjanjabira awaka, n’aηηamba tulindemu.

Nagumiikiriza wabula nagenda okulaba nga tekijja kwe kumugamba nti waakiri antwaleyo ndabe ku mulwadde ne bw’anaaba tannyanjuddeyo mu kiti ky’embeera gye tulimu. Yatandika okwebuzaabuza era nga bwe tusisinkana ajja wange kubanga nali neepangisiza. Nga tuwezezza omwaka, lumu mba ndi ku ‘face book’ nagenda okulaba nga ku peegi ye ataddeko ebifaananyi by’omukyala ng’agamba kitalo nnyo. Neekanga kwe kumukubira ne mubuuza ekigenda mu maaso.

Kyambuukako bwe yaηηamba nti nnyina yafa wiiiki ewedde. Bwe namubuuza lwaki teyambikira yaηηamba nti mu kiseera ekyo yali awunze kwe kwerabira okumbikira. Kino kyandeetera ebirowoozo bingi era olw’obusungu ne mwesonyiwa kuba nalowooza nti yandiba omufumbo nga bulijjo kye kyali kimugaana okuntwala ewuwe.

Abasajja abantuukiridde nga bandaga nga bwe bali siriyaasi bwe mbalamu basoba mu 10 wabula ogenda okugezaako okumuwa obudde ogenda okukizuula nga bali birala nnyo. Abamu olubeerako naawe okumala akaseera abulawo lumu n’essimu zo n’aziteeka mu ‘bulaaka lisiti’ ate abalala ogenda okwekanga nga kye wali omusuubira okuba si ky’ali oluusi nga yali mufumbo n’akikukweka.

Kati emyaka etaano nga ntambulira mu mbeera bwetyo sifuna nga muntu ali siriyaasi.

EBIVIIRAKO ABANOONYA OKULWA KU MUDAALA Melanie Namatovu abuulirira abafumbo e Wakaliga yagambye nti ebirwisa abawala ku mudaala gw’abanoonya mulimu;

1 Mu butonde omusajja y’alina okutandika ensonga z’omukwano, era abakazi batono abeevaamu n’alaga omusajja nti amwagala.

Ate omuwala alaga omusajja nti amwagala era oluusi amulaba bulala.

2 Obutakyusa mbeera; Kino kitwala ebintu bingi omuli ennyambala, enneeyisa eyabulijjo n’ebirala. Ekiseera ky’okunoonya omubeezi kyetaaga okwetereeza okusobola okusikiriza abaami abawera nga mwabo mwe muyinza okuva omutuufu.

Weekubemu ttooci mu mbeera zo olwo n’ogenda ng’okyusaamu okugeza, bw’oba ayambala mpale zokka, kyusaamu n’ogula ku biteeteeyi ne sikaati. Buli lw’okyusa mu ndabika n’abo ababadde tebakufaako bajja kukuteekako ebirowoozo.

3 Okukyusa ekifo: Okulemera mu kifo ekimu kiyinza okukulemesa okufuna omusajja. Okugeza lwaki ku kyalo kw’okulidde era kw’opangisa omuzigo? Jjukira nti buli omu abeera akumanyi era bw’aba takulabangamu mulamwa kijja kuba kizibu okugulaba oluvannyuma lw’ekiseera.

4 Okwolesa embeera y’okwefaako obw’omu; Abanoonya bangi kino bakikola mu mbeera ya butamanya kyokka ne kikanga abaami abandibatutte. Embeera y’okwefaako yeeyolekera mwebyo ebyogerwa omuntu by’alaga nti bye yeetaaga. Okugeza bangi abatera okunoonyeza ku ttivvi ne mu mpapula z’amawulire batera okwogera bye beetaaga naye mu bino mwe mubeera ebiraga okwefaako.

5 Obutaba nakigendererwa kya bufumbo; Abanoonya bangi kino bakikola oli n’abeera ng’anoonya kyokka ng’akulembeza kino, nti; “njagala omusajja ampase ankolere bizinensi”. Kino kiraga nti tolina kigendererwa kya bufumbo wabula oyagala kufunamu bufunyi.

Okunoonya omusajja kyandibadde kimu nga kyetongodde. Wabula bw’okigattako okukukolera bizinensi obeera olaga nti oli ku miramwa ebiri ogw’okukola n’obufumbo. Kino kikugobera abasajja abatuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Poliisi ekutte bana ababba ...

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma...

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANG...

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde...

Omusumba Serverus Jjumba.

Abasumba bavumiridde ebikol...

ABASUMBA okuli ow’essaza ly’e Masaka n’Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby’okutyoboola...

Martin Kiiza akulira ekibiina ekya National Children Authority ng'annyonnyola ku mbeera y'abaana mu kiseera ky'omuggalo

Omuwendo gw'abaana abakabas...

  EKITONGOLE ekikola ku nsonga z'abaana ekya National Children Authority (NCA) kiwadde lipooti ku ngeri embeera...

Kalinge

Avunaaniddwa lwa kusaba sse...

OMUKOZI mu minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga asimbiddwa mu kkooti e Nakawa n'aggulwako omusango gw'okusaba...