
KIBA kizibu okukweka omwana era nkimanyi otya mukyala wo naye kiba kirungi n’akimanya kubanga kiyamba omwana okukula ne banne kuba talina musango.
Nkimanyi kizibu okubuulira omukyala naye olina okumugamba naddala bw’oba tolina gy’ogenda kukuliza mwana ono.
Oba olina bannyoko osobola okumubatwalira naye era omwana ono gwe alina okumukuza era buvunaanyizibwa bwo.