TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyansomesa eby'omukwano andabizza ennaku

Eyansomesa eby'omukwano andabizza ennaku

Added 3rd September 2018

OMUSAJJA eyasooka okunzibula amaaso mu by’omukwano, yandabya ennaku. Nze Blessing Nayiti 25, mbeera Kawempe. Nafumbirwa nkyali muwala muto nga ndi wa myaka 15.

 Nayita

Nayita

Mu kiseera we nnafunira omusajja nali mbeera waffe e Kaseese mu bazadde bange ng’ebyokusoma nabivaako.

Yantwala mu maka ge agasangibwa e Kazo ne tutandika okubeera ffembi mu bufumbo oluvannyuma lw’okuntolosa mu bazadde bange.

Okusooka ebintu byali bitambula bulungi naye embeera zaakyuka nga wayiseewo emyezi ebiri n’anfuukira ekizibu.

Yanfunyisa olubuto olwasooka naye nga yeeyisa nga bwalabye. Nga tanfaako era nga buli kimu okukifuna lutalo.

Okukola ku byetaago by’awaka nga nsooka kumulumba ku mulimu okumwegayirira n’ensonga okuziyitiramu ku mikwano gye nalyoka abaako ky’ankolera kakubeere kumpa za ddwaaliro.

Ekiseera kyatuuka ng’awaka ayingira matumbibudde nga yeekwasa nti ava ku mulimu, kulaba mupiira n’ebirala.

Nali mu kaseera kazibu ng’awaka ntyawo kuba mu nju nabeerangamu nzekka nga ye taliiwo.

Embeera yeeyongera okunyigiriza nga nfuye olubuto olw’okubiri era n’ayongera okundaga obujoozi omuli n’okundiisa akakanja.

Obufumbo nabumalamu emyaka mukaaga naye nga nfumbira ku bugubi.

Ekyasinganga okunnuma ng’ensonga zino sirina bwe nziyingizaamu bantu bakulu kuba ewaffe n’addukayo nga tebamanyi gye nalaga.

Empisa n’ebikolwa by’omusajja natuusa ekiseera nga mpulira mbikooye era lwakya lumu ne muviira mu maka ge ne nzira ewaffe.

Okuva olwo eby’abasajja nasalawo okubyesonyiwa era ne mbikwasa Katonda okutuusa lwalimpa omuntu omutuufu. Okuva lwe twayawukana kati wayiseewo emyezi ena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...