TOP

Jjangu oyolese mu musomo gwa Ssenga

Added 5th September 2018

WALIWO ebintu ebiwerako ebyongera ebirungo mu mukwano naddala mu kisenge ebiyamba abaagalana okunyumirwa ensiitaano y’omukwano.

 Abantu nga bayiikidde Ssenga Naluggya Tomusange beegulire ku butiiti n’eddagala, oluvannyuma lw’omusomo ku Freedom City e Namasuba omwaka oguwedde.

Abantu nga bayiikidde Ssenga Naluggya Tomusange beegulire ku butiiti n’eddagala, oluvannyuma lw’omusomo ku Freedom City e Namasuba omwaka oguwedde.

Nga Ssenga wa Bukedde agenda mu maaso n’okutegeka omusomo gw’abakulu, mu bigenda okubeerayo mwe muli okulaga ebintu bino ebikozesebwa okunyumirwa akabbinkano k’omukwano.

Abakazi nga beetegekera abaagalwa baabwe mu kisenge balina bye bambala okwongera ebirungo mu mukwano. Ng’oggyeeko engoye eziteeka omusajja mu muudu, omukazi ayambala obutiiti nga buno bulimu langi enjeru ne bbululu so nga waliwo n’embu ezirina okwambalwa ku butiiti.

Bino byonna byakulagibwa abanaayolesa mu musomo guno ogugenda okubeera ku Freedom City nga September 29, 2018 ku mulamwa ogugamba nti ‘Endigito ya laavu layivu ku siteegi’.

Abakazi bangi bafuna okusoomoozebwa bwe kituuka ku birungo bye bassa mu mukwano.

Mu bino mubaamu abamu gwe beeyitira ‘ssupu’ ng’ono y’avubiriza ekkubo bba mwayita ng’alinnye gologoosa emirimu ne gibeera ‘talatibu’.

Mubaamu n’abanoonya okwezza obuggya, abasajja baleme kubatuukako nga baalagaya dda olwo nga ppata zaggwaamu dda laasitiika era bano bafuna ‘mufunza’.

Ssenga Naluggya Tomusange agamba nti eddagala erikola ku nsonga zino weeriri era abalikozesezzaako bafuna akamwenyumwenyu mu kisenge n’emirimu gyabwe okusiimibwa.

Agamba nti mubaamu abakazi abatuuka okwebuuza lwaki bannaabwe bawangaaliramu bufumbo ne banyweza babbaabwe mwaka ku mwaka n’ategeeza nti babeera ne kaddoozi ka ‘muwoomya’ nga ddala omusajja lw’akiika avaayo yeekomba olwa sukaali alungiddwa mu munne ekibawaliriza n’enkeera okuddamu okusaba bakiike. Ate ku basajja abanoonya okufuna embavu mu buliri nabo tebabalekeredde.

Ng’oggyeko ebinaasomesebwa ku bye balina okukola okumatiza omukazi mu kitanda waliwo ebirala ebigenda okukuyambako okufuna embavu weewale okuyitibwa ssasi limu oba obutabeera na YAKA ateekebwa ku masannyalaze.

Ssenga Naluggya agamba nti ensonga zino zonna zisobola okunogerwa eddagala n’okufuna ddoozi ezitereeza era bino bye bimu ku bigenda okubeera mu musomo gw’abakulu Ssenga wa Bukedde gw’akutegekedde gy’onoova ng’ofunye ekikolo n’eddagala.

Abanaabangula abantu mu musomo guno ogw’abakulu ogunaatandika ku ssaawa 4.00 ez’oku makya mulimu; Edith Mukisa, Naluggya Tomusange, Hamidah Namatovu, Kevin Nyanja n’omusawo omukugu mu nsonga z’abakyala, Dr. Mpanga.

Wajja kubeerayo n’abayimbi okuli Catherine Kusasira, Carol Nantongo n’abalala ng’okuyingira kujja kubeera kwa 10,000/- zokka.

Ggwe ayagala okwolesa ddoozi z’ebintu bino ebyongera ebirungo mu nsonga z’omukwano, omukisa guuguno togusubwa.

Bwoba oyagala okumanya ebisingawo kuba ku 0702201042 oba 0772404772 oba 0772462206.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.