TOP

Baze ayagala muganda wange

Added 19th September 2018

MUGANDA wange ayagala baze kubanga nze sizaala. Bwe mugambako ng’agamba nti muganda wange ye yamukwana era talina kyakukola. Nkoze ntya obufumbo bwange?

BALO akulimba, wadde mugandawo yamukwana naye tekitegeeza kukkiriza.

Eky’obutazaala tekitegeeza nti balo alina kwenda ku muganda wo.

N’ekirala si gwe atazaala mwembi mufunye obuzibu mu kuzaala anti waliyo n’abasajja abagumba.

Abafumbo nga tebazaala omu ku bbo ayinza okubeera omugumba oba mwembi.

N’ekirala, oluzaalo mulina kulunoonya ne balo si ggwe wekka.

Kati balo okuganza muganda wo, obufumbo bwo buyinza okufa mu mbeera eno. Era engeri gy’akuddamu, kiraga nti naye mu kintu mw’ali.

Takulimba nti yali talina  kyakukola. Abasajja abamu boogera bwe batyo ng’ayagala kweggyako musango.

Ensonga zibuulireko abazadde boogereko naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramula Kabasinguzi agambibwa okusibira omwana mu kkeesi.

Agambibwa okusibira bbebi m...

OMUWALA agambibwa okusibira bbebi mu kkeesi n’amutta avunaaniddwa n’asindikibwa mu kkomera e Kigo. Ramula Kabasinguzi...

Irene Namutebi ne mukwano.

Namutebi ku gw'okuyimba aga...

“Kati ndi musawo, myuziki ne bw’aba tatambudde bulungi sikyayinza kubulwa kyakulya.” Bwatyo Irene Namutebi abamu...

Cindy ne muninkini we Joel Okuyo.

'Joel Okuyo weebale kumpony...

Cindy awezezza emyaka ettano mu laavu n’omulenzi we omupya n’asuubiza abawagizi be nti essaawa yonna abanjulira...

Omugenzi Kasamba

Kitalo! Omubaka wa palament...

Bya Jaliat Namuwaya EKIBIINA kya NRM kikakasizza okufa kw'omubaka wa palamenti ya East Africa Mathias Kasamba...

Stones ng'acanga akapiira

Omutendesi wa Man City y'as...

OMUZIBIZI wa Man City, John Stones alidde nga mulimi Bakama be aba bwe bamuwadde endagaano empya mw’anaafuniranga...