TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ab'ensulo ezikalira mujje mu musomo gwa Ssenga mufune ekikolo n'eddagala

Ab'ensulo ezikalira mujje mu musomo gwa Ssenga mufune ekikolo n'eddagala

Added 26th September 2018

EKIMU ku bisinga okucamula omusajja ng’ali mu kitanda n’omwagala we kwe kumukwatako ensulo ne zitandikirawo okusumulukuka.

 Ssenga Hamidah ng’asomesa mu musomo gw’omwaka oguwedde. Ne ku luno ajja kubaayo ng’abasomesa ku by’omukwano.

Ssenga Hamidah ng’asomesa mu musomo gw’omwaka oguwedde. Ne ku luno ajja kubaayo ng’abasomesa ku by’omukwano.

Yadde abasajja bacamukirawo naye ate n’ensulo bwe zigabirawo nakyo kibongera okufuna obwagazi era ensiitaano bw’etambula obulungi basigala bakuba n’obufaananyi nga bajjukira nga munne bwe yamugabudde n’asigala nga yeenuguuna.

Wabula abakazi abamu balina ekizibu ky’ensulo okukalira, abalala nga zirwawo okusumulukuka olwo ye kennyini ne munne amuteekateka ne babeera mu kusoberwa. Wadde abakazi abamu bakiteeka ku basajja obutamanya kubanoonya oba okubafubutukira, naye waliwo ne be baakazaako erya Nabukalu nga kubeera kusiitaana kwennyini ng’azina n’owekunfu okumuggyamu omwasi.

Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abaagalana n’abafumbo agamba nti ensulo okukalira emirundi egisinga kiva ku bwongo bwa mukazi ku ngeri gy’ayingidde ensiitaano y’omukwano oba munne engeri gy’amuteeseteeseemu.

Agamba nti abamu babeera banyiivu eri abaagalwa baabwe olwo obusungu n’abwongezaayo mu kitanda. Abalala babeera bakoowu okwegatta ne kufuuka luwalo.

Embeera zino zonna zitera okukaluubiriza abakazi okusumulukuka ensulo. Ssenga Mukisa agamba nti mu musomo bajja kukunnyonnyola engeri gye weetegekamu, naawe abadde omukoowu oba ng’olina obusungu eri munno n’osobola okubizza ku bbali n’obeera mupya mu kitanda.

Mu musomo era ojja kusomesebwa by’olina okulya n’okukozesa okusobola okuzza obuggya ensulo ne zibeera nga tezikalira ggwe n’omwagala wo munyumirwe ensiitaano y’omukwano.

Emirundi egisinga munno bw’akunyumirwa mu kitanda, talabankana, ate bw’obeera ne muggya wo, weesanga ng’emirundi gy’ajja ewuwo gyeyongera anti abeera afunayo essanyu ery’enjawulo.

Wano omanya nti n’omusajja omunywezezza. Wagenda kubeerayo n’abagenda okwolesa ebintu n’eddagala ebizza obuggya ensulo z’omukazi olwo obeere ng’ofunye ekikolo n’eddagala.

Omusomo gw’abakulu, Ssenga wa Bukedde gw’akuleetedde ku Freedom City gwakubeerawo ku Lwomukaaga luno nga September 29, 2018 ng’okuyingira kwa ssaawa 4.00 ez’oku makya.

Wajja kubaayo bassenga ne bakojja wamu n’abasawo abakugu abagenda okukubangula mu nsonga z’omu kisenge, ennyingiza mu maka, engeri gye weetegekeramu munno nga muyingira Namboole, abasajja abalagaye bwe bayinza okuddamu okufuna embavu n’ebigenda okunyweza omukwano gwammwe.

Okuyingira kujja kubeera kwa 10,000/- nga wajja kubeerayo n’abayimbi okuli Carol Nantongo n’abalala bajja kukusanyusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata.

Ebya Muzaata birimu ensonga...

SHEIKH Nuhu Muzaata Batte okutwalibwa mu ddwaaliro yasoose kukubwa puleesa olw'ensonga z'amaka. Ensonda mu ffamire...

Lukwago mu ddwaaliro.

Abasawo bye bazudde ku bulw...

ABASAWO bakola ekisoboka okutaasa Loodi-Meeya Ssaalongo Erias Lukwago eyalumbiddwa obulwadde bwa ‘Acute Anaphylaxis’...

Katikkiro Rugunda

Gavt. eragidde bassentebe b...

KATIKKIRO wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda alabudde nti, obulwade bwa Corona kati buli ku mutendera omuzibu era n'asaba...

Okuva ku kkono Ying. Ronald Kibuuka, Jolly Kamishani,Margaret Kaziimba ne Can. Dr. Ruth Senyonyi e Namirembe.

Kkanisa ya Uganda etongozza...

EKKANISA ya Uganda etongozza kaweefube w'okulwanyisa ebikolwa by'okutulugunya abantu ng'abatulugunya basinziira...

Ainembabazi (ku kkono), Kasozi ne Nantongo (ku katono) nga bali ku poliisi.

'Nnina obukakafu ku bwenzi ...

OMUKAZI addukidde ku poliisi n'aloopa munne bwe basula ku mizingo olw'okumwogerako nga bw'ali malaaya ng'ate mufumbo....