TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye mu nnyimba

Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye mu nnyimba

Added 26th September 2018

NZE Justine Nalweyiso 24, mbeera Kyebando Nsooba ndi muyimbi nga nnaakayimba ennyimba okuli Bbebi Ndunya, Ndaba ku ki, Nkwagala kufa era zino nsinga kuyimba ku mbeera ze mpiseemu.

 Nalweyiso

Nalweyiso

Mu kusooka baηηambanga nti abasajja balimba nga mpakana naye kyamala kuntuukako ne nkakasa.

Mu 2011, nasisinkana mwana mulenzi eyaηηamba obugambo obwantengula omutima anti yansuubiza okunzibira ne nkubamu akafaananyi nga ndi mu maka gange.

Teyakoma yansuubiza n’okumwanjula ewaffe era olw’ebigambo ebyo, nnakkiriza tutandike omukwano gwaffe.

Twasooka kusisinkanira mu loogi ng’agamba nti ayagala kusooka kwetegereza mpisa zange oluvannyuma alyoke ampangisirize nga bw’akola ku by’okunzimbira era ne nzikiriza.

Ekyamala enviiri ku mutwe, omusajja ono olwamala okunfunyisa olubuto n’agamba nti abadde tannalowooza ku kuzaala era nandagira nduggyemu wabula maama n’aηηaana.

Naguma n’olubuto wakati mu kusoomoozebwa nga n’oluusi ekyokulya kimbula naye ng’omusajja ne bwe mmukubira essimu tagikwata. Katonda yannyamba oluvannyuma ne nzaala.

Bwe nnamala okuzaala, nnalowooza nti osanga bwe naamala okuzaala, omwana anaamwagala naye teyamuwa wadde ekintu n’okutuusa kati. Omwana kati wa myaka mukaaga.

Ekibi omusajja ono yafi ira mu kabenje. wadde abadde tannyamba naye yandibaddewo kuba ye taata w’omwana wange. Oluvannyuma naddamu ne nfuna omusajja.

Naye olw’okuba abakazi batulimba, yannimba bye bimu naye ne nzikiriza okukkakkana nga lubuto naye ne muzaalira omwana omuwala nga kati alina emyaka 3 naye talina wadde olugoye lwe yali amuwadde Kino kyandaga nti omuntu okubeera obulungi, talina kwesigama ku basajja wabula kwekolere.

Omusajja bw’akudibya ng’olina ssente tekikuluma okusinga nga ggwe omweguya.

Mu kuyimba nfunamu ssente ezirabirira abaana bange, okusasula enju n’okwebeezaawo.

Sigaanyi nja kuddamu nfune omusajja omulala wabula nga mmaze kumwetegereza kuba okuzaala buli mwana ne kitaawe nabyo si birungi.

Abawala mbasaba bakomye okugwirana na buli musajja ate n’abakazi tukomye obuyaaye okuli okugattika abasajja kye nsuubira nti kye kibafudde abayaaye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...