TOP

Baze yannema lwa kundeka mu leeba

Added 28th September 2018

NZE Sharon Nakigozi 20, mbeera Wampewo.Twali tubeera ne baze e Maganjo ku lw’e Bombo mu bufumbo.

Baze yali akolera wa Kisekka ng’ayokya byuma naye nga nze yaηηaana okukola nga yeekwasa nti abasajja bajja kunkwana era nga mbeera waka. Okugenda okumufumbirwa, tetwasooka kugenda mu bakadde bange kumutegeera wabula kyali wakati wange naye.

Twasooka kubeera bulungi kuba yali tanjuza naye embeera ze zaakyuka oluvannyuma lw’okunfunyisa olubuto nga n’awaka tewali ky’alekawo wadde okumpa ssente z’eddwaaliro.

Embeera nalaba etabuse ne ntandika okunoonya eky’okukola ng’ebiseera ebimu nnima n’okwoza engoye ku kyalo okusobola okufuna ku ssente ezinyimirizaawo.

Olubuto lwampisa bubi nga buli kiseera mbeera mulwadde era omwana saasobola kumuzaala nga mulamu kuba yafi ira munda.

Oluvannyuma nadda awaka ne ntandika okufuna obujjanjabi okutuusa lwe natereera. Naddamu ne nfuna olubuto olulala naye ne bantegeeza nti lwali lwa balongo.

Kino abasawo mu ddwaaliro e Maganjo gye nafuniranga obujjanjabi be baabintegeeza.

Olubuto bwe lwaweza emyezi mukaaga, lwatandika okunnuma nga lwagala kuvaamu, olwo abasawo ne bampa amagezi okukomya okukola emirimu egy’amaanyi ng’okulima n’okwoza.

Baze ensonga zino bwe nazimuyitiramu yagaana okumpuliriza era nti nnalina okukola kyonna ekyetaagisa nkole bwatyo n’addamu buto okundiisa akakanja.

Eby’embi olubuto lwatabukira ddala okukkakkana nga bampadde ekitanda mu ddwaaliro lya KCCA e Kawempe.

Abalongo baavaamu nga tebannatuuka ne bababikka wabula ne babuuka nga wayiseewo olunaku lumu.

Twagenda ewaabwe e Mpigi gye twabaziika era bingi byayogerwa abeηηanda z’omusajja mu kuziika.

Era baze ne bamulangira nga bwe bakooye abaana be ku kiggya kuba yagaana okubaako by’atuukiriza mu kika kye ekyali kiviirako abaana be okufa olw’okuba yali yagaana okukola emikolo gy’okulokoka. 

Twadda awaka nga nkyali mulwadde naye baze n’andagira ngire nga mbeera ewaffe nsobole okutereera n’ansuubiza okunnona nga nteredde.

Waayitawo emyezi ebiri ne ntereera kyokka nga buli lwe mukubira essimu nga yeekwasa obusonga obutaliimu era nti ye agenda Burundi ku mirimu.

Lumu namukubira essimu n’ansaba nnone ebintu byange nti yankoowa kuba nzaala abaana abafa era nti ayagala kukyusa ku mukazi.

Nagenda ne nnonayo ebintu byange era ne twawukana ne nzira ewaffe kati omwaka mulamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...