TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebizibu ebiba mu kwegatta n'engeri y'okubimalawo

Ebizibu ebiba mu kwegatta n'engeri y'okubimalawo

Added 16th October 2018

Okwegatta kuba kwa kyama era ebibaayo tebisaanye kwasanguzibwa. Wabula olw'ebizibu ebibaayo y'ensonga lwaki abamu babiteeka mu lwatu.

 

OKWEGATTA kukolebwa mu kyama. Era ebibaayo tebisaanye kwasanguzibwa. Wabula olw’ebizibu ebiba mu kabbinkano k’ababiri kano, y’ensonga lwaki abamu batuuse ku ssa ly’okubiteeka mu lujjudde.  Ate nno munnange oyinza obutabanenya nnyo ggwe ate ekibi tekyogerwako, enkolo y’emmere?
Abaagalana bangi ensangi zino abanoonya amagezi ku bizibu bye basanga mu kwegatta. Era abafuddeyo okunoonya ekyokuddibwamu babifunye. Wabula wakyaliyo abasirika ne bafa kisiiri. Abamu basalawo kuva mu bufumbo, so ng’oluusi ekizibu kyandibadde kinogerwa eddagala.
Bukedde yatuukiridde abantu ab’enjawulo, ne boogera ku bizibu bye basanga mu kunyumya akaboozi, wadde ng’ebiseera ebisinga babulwa embavu okubibagamba. Abamu oluusi ensonga bazitunuza mu bassenga, emikwano oba abakulu b’eddiini ne bazitunulamu, naye abasinga basirika n’ebizibu byabwe.
Richard Muliika 33, ow’e Salaama mu Kampala agamba nti omukazi obutannyaniriza nga tutandika akaboozi kimpisa bubi ddala. Abakazi abamu oluteekawo nga kiwedde ng’alinga agamba nti; ‘kola kyonna ky’oyagala, okutuusa lw’onennyula..,’ Ne bw’ofaayo okumunoonya tagezaako wadde okukuyambako sso nga naawe oba oyagala akufeeko olwo oyongere okufuna obwagazi. Kasita agalamira nga ggwe musajja wattu otandika kwekeja ng’alinga agamba nti bye mukola bigasa ggwe wekka.
Ate Hadijah Nanyonga43 ow’e Kitintale agamba nti; Nze nina ekizibu ky’obutafuna bwagazi, naye omusajja bw’akomawo ankaka okwegatta naye ate nga sirina we mugaanira. Ekivaamu gwe mugongo okunnuma. Ate okuva lwe naweza emyaka 40 siddangamu kugenda mu nsonga naye nafuna obulwadde bw’omugongo, kyokka omusajja ne bwe mugamba tampuliriza.
Kati nasalawo ne twawula ebitanda ne nfuna n’omwana gwe nsula naye mu buliri naye oluusi omusajja amuggya mu buliri era n’ajja n’ankaka twegatte.
Richard Kironde 26 ow’e Kireka agamba nti; Mukazi wange akoowa mangu nga nze sinnamala, era bwe ndaba ng’atuuse mu mbeera eno, nfuba okuddamu okumussa mu muudu naye kitwala akabanga era bw’akkiriza nfaayo nnyo okulaba nti mmala mangu nga tannadamu kukoowa.  Ate obuzibu bwe nnina nange amaanyi n’obwagazi nina bungi kati ndowooza kimuyitirirako n’akoowa mangu. Ekirala njagala nnyo okuzannyira ku ngulu naye oluusi amazzi gayitirira era kati eby’oku ngulu oluusi mbyesonyiwa nga nina kuyingira munda, naye nga bwe nvaayo ho...! gayiika okukamala.
Rehemah Natukunda 19 abeera Kabowa; Nze nnina ekizibu nti saagala musajja kunneebakako yenna n’anzigwerako kuba mba sissa bulungi  nga nziyira era kati nasalawo butakozesa sitayiro ya misonale. Ate buli lwe tumala okwegatta olubuto lunnuma nnyo. Olw’ebizibu bino mba njagala bwe twegatta tuyiseewo akabanga nga sizzeemu kumulaba, era oluusi bw’ampita okugenda ewuwe sikkiriza.
Madinah Nabuuma 27 ow’e Kibuli; Nze saagala kunsonseka ngalo mu bukyala era kimmalako emirembe. Omusajja bw’ankwatayo n’obwagazi obutono bwemba nfunye bubula. Ate no ye amanyi nti gy’akomya okukwatayo nange mba nnyumirwa ekitali kituufu kubanga mpulira nga n’okwegatta kuntamye. Olumu mugamba n’alaga nti akitegedde naye olumu ate n’abyerabira n’agiteekayo ne mpulira obusungu.
Sylvia Nakanwagi 34, abeera Ntebe agamba nti; Omusajja wange amalamu  mangu akagoba ate tamanyi kumpaanako ne bwe mmuwaana ntya awuuna buwuunyi.
Thomas Kizito 32 ow’e Mutungo Bbiina; Nze bwe mba ne mukazi wange olumu awunya ne kintamya okwegatta naye. Ebiseera ebimu mugaana okulya ebintu ebimu naddala buli lw’aba alidde chipusi avaamu olusu olutta apetayiti.
Peninah Katushabe 38 ow’e Banda; Nze omusajja wange munene buli kaseera nze mbeera nina okumudda waggulu kuba ye bw’adda waggulu mbeera simuwulira bulungi ate akoowa mangu n’aweekeera nnyo.
Tugezaako okukozesa ku bukodyo obulala naye teyeesobola kati tolaba nti ndi lubuto naye abeera ayagala mmutuuleko kyokka kati olubuto lukuze nange sikyalina maanyi geesuukunda. Tugambire ku bassenga batuwe ku magezi naffe abalina abasajja abanene kuba tuli bubi.
Rashidah Lunkuse 21 ow’e Kyengera;  Nze muganzi wange annyizaako kimu, buli lwe tubeera mu kaboozi  ne tuwummulamu ng’atandika okunnyumiza eyali muganzi we Jackie nga bwe yalina amazzi amangi nti era olumu akaboozi tebaakanyumizanga ku buliri.
Ate bwe tuba mu kaboozi kennyini  abeera ayagala nga bw’awuliriza leediyo nga bw’aseka. Ebeerangako leediyo ng’eriko ennyimba z’omukwano, naye wa? Ng’oluusi kuliko pulogulaamu za byabufuzi!
Mpulira obusungu bunzita era kati noonya musajja mulala. Kale wadde alaga nti afaayo mu birala naye mu buliri atama kyokka ye taddako awo kwebuuza nti oba lwaki simwebazangako nga tumaze okwegatta.
Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abaagalana n’abafumbo agamba nti ng’oggyeeko ebyo waggulu, waliwo ebizibu ebirala abaagalana bye basanga mu kisenge omuli;
Omusajja omutono ekiyitiridde. Kino oluusi kiremesa omukazi okutuula n’afumba, ate abamu ne basalawo okubaliga okufuna ku mugonja oguyinza okumubukala. Ate ekizibu n’omusajja bw’amanya nti tawera bulungi tafaayo kufuna bukodyo bunaamalako munne nnyonta.
Omusajja atawera alina okukozesa obukodyo obulala asobole okumatiza mukazi we. Okugeza yeewale okwefubitika munda kuba omukazi tasobola kumutuuka. Zannyira kumpimpi awo, nga bw’ogattako obukodyo obulala, ojja kulaba nga munno anyimirwa eddya.
Ekizibu ekirala kye ky’omusajja obutayaka. Kino oluusi kijjawo olw’embeera nga obulwadde, ebirowoozo oluusi n’emyaka. Omukazi buli lw’asigala n’ennyonta ebintu tebiba birungi.
Ate waliwo n’abasajja ng’agezaako n’acamuka, wabula olutandika emirimu enkasi n’eggwaamu amaanyi, olwo mukazi wattu abadde yeesunga okulya ekiwera n’akoma ku munaabo.  Kino oluusi kibaawo ng’omusajja yeekase okwegatta naye ng’ebirowoozo tebiriiyo.
Ekizibu ekirala be bafumbo okukomya okwegatta. Kino oluusi kibaawo ng’omu takyabyagala ate nga munne awulira akyabyagala, ayagala ne yeesanga ng’anyigirizibwa okuba nga tafuna ky’ayagala, ate bw’agezaako okukaka munne era tebiba birungi.
Mukisa agamba nti ekisinga obukulu mu nsonga z’okwegatta kwe kuwuliziganya. Munno mubuulire ekikunyiiza n’e ky’oyagala akukolere.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...