TOP

Omusajja yandekera omwana omulwadde

Added 5th December 2018

NZE Halima Bayiga, ndi musuubuzi wa manda nga mbeera ku kyalo Wampala mu disitulikiti y’e Buikwe. Ku myaka 19 gye nnina, neevuma olunaku lwe twayagalana ne Mubiru kuba andabizza ennaku sigitenda!

We twasisinkanira, nnali mbeera Bugembe ewa ssenga. Bwe yansaba twagalane, namubuuza oba alina omukazi n'aηηamba nti nze mukyala yekka gw'ayagala mbeere maama w'abaana be.

Kino kyaηηumya ne nfuna esuubi nti ne bwe nfuna olubuto, ηηenda bugezi ne mufumbirwa kumbe endowooza yange yali nkyamu.

Nga wayise ekiseera, nafuna olubuto ne mmugamba era nanzirukako nga kwa myezi esatu.

Ab'ebyokwerinda ku kyalo n'abafamire yange baamunoonya okutuusa lwe bamukwata ne bamusiba.

Baamukozesa endagaano okundabirira ne baamulagira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe era n'alaga nti akkirizza.

Kyokka oluvannyuma yeecanga n'abagamba nti ye alina mukyala we eyali yaakalongoosebwaamu omwana era talina busobozi kupangisa n'akulabirira maka abiri. Naddamu okumulaba nga nazaala nga n'omwana awezezza emyezi ena.

Eby'embi omwana yazaalibwa ng'afulumira mu bukyala. Kati awezezza emyaka esatu naye tamuwa buyambi wadde ssente z'obujjanjabi.

Embeera enkaluubiridde kuba sirina buyambi, sirina mulimu ate n'abafamire yange baηηamba nti kye bankwatiddeko kimala noonye taata w'omwana atandikirawo.

Oluvannyuma nafunayo omusajja omulala n'ampasa n'omwana wange omulwadde ne tuzaala n'omwana omulala kyokka naye agamba asobola okugulira abaana ekyokulya naye ez'obujjanjabi tazirina kuba enfuna ye si ya mulembe.

Omwana namutwala mu ddwaaliro e Mulago ne bamufulumya ebyenda kati yeyambira mu mbiriizi naye obulumi alina bwamaanyi.

Kino kindeetedde ennaku ku mutima. Abasawo bansabye ssente omwana alongoosebwe ze sirina mu kiseera kino.

Nasazzeewo okujja ku Bukedde okusaba abazirakisa okunziruukirira n'obuyambi bwa ssente oba omulimu omwana wange alongoosebwe.

Alina obuyambi asobola onkuntuukirira ku nnamba y'essimu; 0758702473.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...