TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bwe nazaala omulwadde wa nalubiri baze n'ankyawa

Bwe nazaala omulwadde wa nalubiri baze n'ankyawa

Added 13th December 2018

ABASAJJA kye kimu ku bitonde ebizibu okwesigika. Owange olwakitegeera nti nzadde omwana omulwadde n’anzirukako Nze Mariam Nakabugo 23, mbeera Kalerwe - Makerere III mu Doobi Zooni mu muluka gwa Kawempe. Twasisinkana ne baze mu 2012.

Ebiseera ebyo, nnali mpeereza mmere mu wooteri e Wandegeya ku Bbiri nga baze asiika capati ate era nga y'omu ku bakasitoma bange.

Nga wayise ekiseera nga twagalana, baze yaηηamba nveeyo ku mulimu gye nali nkola nti nzijje tukole babiri nga muweereezaako ekikomando mu bakasitoma.

Olw'omukwano gwe twalina, nange navaayo ne tutandika okukola ffembi. Wakati mu mukwano guno, baze yapangisa akazigo ne tutandika okubeera ffembi era twamaliramu ddala ebbanga era ng'ampa buli kye njagala.

Omukwano gwe yali andaga, yanneerabiza n'ennaku gye nayitamu nga bazadde bange banfuddeko. Ate waayita mmeka ne nfuna olubuto era ne mutegeeza.

Bannange yasanyuka era omukwano gwaffe ne gweyongera ggiya okutuusa bwe nnazaala.

Naddamu ne nfuna olubuto olwokubiri ne mutegeeza. Yasigala andabirira bulungi okutuusa lwe nazaala.

Wabula ekiseera kyatuuka omwana waffe asooka n'atandika okulwala. Omwana yatuuka ekiseera ng'abeera alwala buli kiseera nga takkakkana olwo nga n'olubuto lutandise okuzimba.

Twagezaako okumujjanjaba naye nga takyukako kuba twalowooza lumbe luganda.

Oluvannyuma twebuuza ku musawo okuva mu ka kiriniki etuliraanye n'atugamba tutwale omwana mu ddwaaliro eddene bamukebere omusaayi okusobola okuzuula ekituufu ekimuluma.

Twamutwala mu ddwaaliro ne bamukebera ne kizuulibwa nti alina obulwadde bwa nalubiri kiyite "sicklecells" Era olunaku olwo lwe nasemba okulaba ku baze n'okutuusa kati.

Ebizibu nga binajja, nakizuula oluvannyuma nti baze yali andekedde olubuto.

Nagezaako okumukubira essimu n'aηηamba mwesonyiwe tazaala baana balwala nalubiri.

Olubuto lwe yandekera omwana namuzaala kati wa myaka ebiri naye tatuwa buyambi.

Nsaba omuzirakisa yenna asobola annyambe n'abaana bange kuba tuyita mu kaseera kazibu naddala omwana omulwadde.

Ndi ku ssimu eno, 0754604225.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...