TOP

Omwami wange alina buzibu ki?

Added 14th December 2018

OMWAMI wange ansobedde. Nga tugenda okwebaka tayagala kwegatta naye mu kiro ssaawa nga 9:00 mu matumbibudde ankwata mavumbavumba oluusi nga sinazuukuka ng’ayiwa. Ssenga simanyi kigenda mu maaso.

NANGE mwana wange kino sinakitegeera. Oba akomawo ng'akooye nga talina maanyi ng'ayagala kwebaka? Era ng'amaanyi agafuna ku ssaawa nga 9:00 era n'abimalira awo?

Oba alina baamalirako amaanyi kati agenda okutuuka awaka nga talina n'asalawo okutuukiriza oluwalo ku ssaawa 9:00.

Ekirala abasajja ennaku zino abamu amaanyi matono naye ng'ebikendeeza amaanyi oluusi bukoowu, endya, ebirowoozo, endwadde nga ssukaali n'ebirala kyokka nga buli musajja aba ayagala okuwulira ng'amaanyi g'ekisajja agalina.

Bw'atabeera na maanyi ga kisajja kimuyisa bubi. Simanyi oba balo wayogerako naye kubanga amaka gagenda kufa.

Okuyiwa buli kiro naye nga tofunye ssanyu tekiyamba. Waliyo n'abasajja abalowooza nti abakyala tebamanyi kye baagala era ky'akola oyinza okukibuusa amaaso.

Bwe kiba nga kizibu kya bulwadde, kirungi n'omanya ne muyambagana. Nkubira ku ssimu eno, 0772458823 twogere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...