TOP

Emigaso gy'okudda awaka nga bukyali

Added 18th December 2018

ABASAJJA abedda baakomangawo awaka mu budde okunywa ku caayi ow‛olweggulo. Era nga n‛omusajja anywa ku mwenge asooka n‛akomawo awaka nalyoka agenda okunywa.

Naye ennaku zino abasajja abasinga bakomawo ng‛obudde buwungedde ate abalala bakomawo ku ssaawa 4:00 oba 5:00 ez‛ekiro ate abalala bakomawo matumbibudde n‛abamu okusulayo.

Omuko gwa leero tugenda kusooka kwogera ku migaso gy‛omusajja okudda awaka nga bukyali.

Kino kitegeeza nti bw‛ava ku mulimu ku ssaawa 11:00 akomawo butereevu awaka.

Sigaanyi waliyo abaami ng‛emirimu gye balina gya kawungeezi, kale nga tebasobola kwewala kudda waka nga buyise. Katugambe abatunda emmere ekiro, abakola mu bifo nga bakolayo kiro.

Ekirala buvunaanyizibwa bwa mwami okulaba ng‛amaka ge matebenkevu. Naye kizibu okufuna emirembe n‛obutebenkevu nga teweefiirayo.

EMIGASO EGY‛OKUDDA AWAKA NGA BUKYALI

 Okugyako ng‛omulimu gwo gukolebwa kiro, bw‛okomawo nga bukyali, n‛emikisa gy‛abantu okukola obubbi gibeera mitono. Sigaanyi waliyo abasobola okukola obubbi n‛emisana naye ebiseera ebisinga abakola obubbi babukola mu nzikiza.

 N‛ekirala bw‛odda ekiro n‛abantu boolese awaka obateeka mu buzibu. Balina okukuggulirawo ng‛okomyewo mu kukuggulirawo nabo basobola okufuna ekizibu.

 Bw‛okomawo nga bukyali, omukyala n‛abaana obawa obudde. Jjukira nti bw‛ova awaka ku makya n‛okomawo ng‛abantu bo beebase togenda kumanya bizibu oba ebirungi ebibaddewo awaka.

 Naye bw‛okomawo ekiro teri budde bwa kwogera. Bw‛omala okunaaba n‛olya emmere nga weebaka. Ate n‛abantu bo awaka babeera bakooye okulinda nga baagala kwebaka.

 Okudda nga bukyali kiyamba amaka okubeera obumu era n‛omukwano gweyongera wakati wo, abaana n‛omukyala.

 Bw‛okomawo nga bukyali ne munno amanya nti oyagala okubeera naye. Era afuba okulaba nti afumba emmere ennungi kubanga ayagala owoomerwe. Mu mbeera eyo akwetegekera bulungi n‛obwagazi abeera nabwo. Era kigambo kwegatta kitambula bulungi.

Bw‛okomawo nga bukyali,abaana bo bafuna obudde okukutegeera nga kitaabwe. Era bamanya nti obaagala kubanga okomawo kubeerako nabo. Mu mbeera eno bafuuka mikwano gyo era basobola okukubuulira ku bizibu bye balina era naawe n‛ofuna obudde okutegeera embeera zaabwe. Kikuwa n‛obudde okugunjula abaana bo. Ebiseera ebisinga abasajja omulimu gw‛okugunjula abaana baagulekera bakyala. Naye ate abaana bwe bamanya nti ne taata agunjula batereera mu mpisa.

 Okukomawo ekikeerezi kikosa bangi era ab‛awaka babeera mu kweraliikirira. Kuno tekubeerawo kiro kyokka naye buli lunaku. Bw‛ofuluma enju, abantu bo tebamanya oba okomawo oba tokomawo. Obunkeke obwo bwe busigala mu bwongo bw‛abawaka kibayisa bubi.

 Amaka agago ekiseera kituuka nga togategeera. Kubanga oyingira kiro ate ofuluma ku makya. Era n‛ebizibu bingi bisobola okubeerawo ng‛abaana okulaluka nga bamanyi nti kitaabwe tabeerawo, mukyala wo okutandika okwenda anti ng‛amanyi w‛oddira kimuwa akagaanya okukola obwenzi. Jjukira nti naye kati amanyi nti tolina budde bwe. Siganye omukyala alina okubeera omuguminkiriza naye ennaku zino abakyala abamu beenyigidde mu bwenzi.

 Omukyala bw‛abeera n‛omusajja naye ng‛akomawo kiro buli lunaku, omukyala atandika okulowooza nti omusajja ayinza okuba ng‛abeera wa mukyala mulala. Omukyala bwatandika okubeera n‛endowooza eyo, kiba kitegeeza tagenda kubeera na mirembe mu mutima gwe. Teri mukyala ayagala kufumba ne muggyawe.

Ebirowoozo bino bireetera omukwano gy‛oli okufuna ebituli. Era omuntu atali mwesigwa, bino bwe biyingira mu by‛omukyala ng‛omanya nti emirembe gigenda kuggwaawo mu maka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Klezia y'e Namataba yaakuma...

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa...