TOP

Omusajja yankuba ne nvaamu olubuto

Added 19th December 2018

BAZE yakozesanga enjaga nga bw’akomawo awaka ng’ankuba emiggo n’ensambaggere. Nze Joan Kansiime mbeera mu Zooni 7 e Makerere mu muluka gw’e Kawempe.

Twasisinkana ne baze mu 2014 ebiseera ebyo, nnali nkola mu bbaala e Kawempe era yali omu ku bakasitoma bange.

Nga wayise ebbanga nga tuli mu mukwano, yapangisa omuzigo e Makerere ne tutandika okubeera ffembi.

Ebbanga lyawerera ddala nga ndi ne baze mu kazigo kaffe era nga ndi musanyufu kuba baze yampanga buli kye njagala.

Nga wayise omwaka gumu, baze yatandika okukyuka mu mbeera ng'amboggola era nga buli kimu kimuyombya nga ne bye yampaananga nga sikyabiwulira.

Mu kiseera ekyo kyennyini, nafuna olubuto era ne ntegeeza baze wabula teyali musanyufu ku mawulire ge nnali muwadde kyokka ate nga nze nnali musanyufu kuba ye yali omwana wange asooka. Baze yantegeeza nti si mwetegefu kuzaala era nandagira ηηende ewaffe.

Nalemerako ng'omukazi kuba nnali sikyasobola kudda waka nga ndi lubuto. Baze mu mbeera eyo, yatandika okunywa omwenge ekitaaliwo n'ankolako effujjo ng'akomawo awaka n'ankuba n'okunsamba okukkakkana ng'olubuto luvuddemu kyokka nga nnali mbuzaayo emyezi esatu nzaale.

Oluvannyuma nagezaako okumunenya ku kye yali akoze n'antegeeza nti yakikola agenderedde kuba yali yaηηamba dda okumuviira ne mulemerako. Kino kyampaliriza okutwala ensonga ku poliisi naye kyambuukako baamusiba leero enkera ne bamuta.

Abaalugera bali batuufu nti awali abaagalana tossaayo kigambo kubanga oluvannyuma lw'ebyo byonna, baze yaneetondera ne tuddamu okubeera ffeena kuba yansuubiza nti agenda kuva ku mwenge bwentyo ne mmusonyiwa ne tuddamu ne tubeera ffembi.

Nga wayise akaseera, naddamu ne nfuna olubuto olwokubiri, olwamutegeeza, we yali yakoma we yatandikira.

Ku mulundi guno yampisiza ddala bubi katono era nveemu olubuto olulala. Wano we nasalirawo ne nviira ekibambulira ky'omusajja nga siri mwetegefu kuddamu kufi irwa mwana era kati nazaala omwana wange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...