TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi balaze ebinaabaleeta essanyu mu kisenge mu 2019

Abakazi balaze ebinaabaleeta essanyu mu kisenge mu 2019

Added 2nd January 2019

ABAKAZI bagamba nti omwaka omuggya 2019 baagala kugutambuliza mu ssanyu n’okugenda mu maaso mu nsonga z’omu kisenge n’ebyenfuna ne bakuutira abaagalwa baabwe okubawonya okwekubagiza, amaziga n’ebinyiizo bye babadde nabyo mu mwaka gwe tukomekkerezza.

 Abaagalana mu mukwano.

Abaagalana mu mukwano.

Balaze ebintu 10 bye basuubira nti bye bigenda okubawa essanyu. Abasajja nabo balina bingi bye bagamba nti bibanyize n'okubamalamu amaanyi ne batanyumirwa mudigido gwa mu kisenge ne basaba abaagalwa baabwe babitereeze mu mwaka omupya.

Abakyala ensonga zaabwe bazisengese bwe batyi.

ABASAJJA ABALINA EMBAVU MU BULIRI 

Abakazi ennaku zino beebuuza ekyatuuka ku basajja abasinga obungi.

Beemulugunya nti abasinga tabakyalina sitamina mu kisenge oluusi kye bayita waaka.

Bagamba nti bu ddoozi bagaba bwa kitundu nga bw'oba ogenda Masaka ku lugendo olwa mayiro olwa 80 abasinga bakoma Mpigi mu mayiro nga 18 so nga waliwo n'abalemwa ‘okusimbula' nga bategeeza abatakyalina maanyi ga kisajja nga bavuya buvuya mu kitanda.

Ssenga Mukisa agamba nti ekimu ku bibuuzo by'asinga okufuna kya bakyala abamwemulugunyiza ng'abasajja baabwe bwe batakyabamatiza. Abalala beebuuza kye bayinza okukola olw'abasajja baabwe abaafuuka ‘ssasi limu' .

Dan Ddamulira abuulirira abaagalana owa Nana Counselling Services agamba nti ekimu ku binafuyizza abasajja kwe kwettanira ennyo ebiwoomerera nga sooda, sukaali omungi, ebisiike, okwekapika ennyo mu mpale nga bambala panti ezibakwata ennyo oluusi n'ebipale eby'omunda ebibaleetera ebbugumu. Agamba nti ebintu bino ebisinga byewalika omusajja n'asobola okubeera n'embavu.

Ebikuyamba okufuna embavu

Ssenga Nassaka ow'e Masaka agamba nti abasajja ab'edda baalyanga ebintu nga gonja omwokye, katunkuma, okunywa amazzi g'enkooge, water melon, omulondo n'ebirala ne bibongera embavu.

Male ow'e Bweyogerere agamba nti ye yali anafuye mu nsonga z'ekisenge n'asalawo okutandika okwegulirayo ‘man power' kyokka nga yasooka kwebuuza ku musawo ku ngeri gy'alina okulikozesa.

Male agamba nti kino kimuyambye okuwangaalira mu nsiitaano y'omu kisenge era afuna embavu eziwera nga lwe yasooka okulikozesa nga tagambye ku kabiite we yamwewuunya n'amubuuza ekimuyambye okwaka.

Wabula ssenga Mukisa agamba nti ebitawaanya abasajja ennaku zino bingi omuli okunoonya ssente, situleesi z'emirimu, okukoowa nga bino oluusi bye bibalemesa okwaka mu buliri.

Agamba nti okusinda omukwano kutandikira mu bwongo nga bwetaaga kubeera bukkakkamu okufuna embavu mu buliri.

Jane Nakalema: Omwami yenna okuyitibwa omusajja omujjuvu kitandikira mu kisenge eri mukyala we. Ntegeeza nti nga teri mulundi na gumu gw'aleka munne wakati mu lugendo lw'omukwano nga basimbudde bombi, ewange bwe njagala kibeere mu 2019 yenna.

Abakazi bagamba nti ekimu ku bibamalamu amaanyi mu buliri be basajja obutakyusa mu ngeri gye balina okubakwatamu okubaleeta obwagazi.

Bagamba nti 2019 talina kubeera wa mukwano gwa KIKWATE nga bwe baabatandikanga mu buliri emyaka etaano egiyise ne kati bwe babatandika awatali kukyusa.

Bagamba nti ng'oggyeeko ebbeere, ebithambi n'okunywegera, balina ebitundu ebirala ebibasumulula nga okuyisa olulimi mu bulago, okubatakulako mu kafo ako okutu we kwawukanira, okubanuuna wansi w'ekkundi nga bw'obanywezezza amagulu (nga bagawanise) we geegattira ku kiwato so nga n'ebbakuli tebakola bubi.

ABAWALA AB'EBBALI

Bano bbo ekizibu kyabwe kya basajja butabawa budde bumala ng'omwaka guyinza okukoonoka nga tebasuzeeko nabo.

Abawala bano bagamba nti bakooye abasajja okuyitirayo obuyitizi, baagala nabo babaweeyo akadde basuleko mu bifuba byabwe.

OKUNAABA

Abakyala bagamba nti ekimu ku bibaleetera okubulwa apetayiti be basajja abatayagala kunaaba ne yeesogga obuliri ng'awunya entuuyo oba olwayo.

Bagamba nti babbaabwe bwe baba batya okunaaba amazzi amabisi bo beetegefu okubateerayo agabuguma mu kinaabiro.

Bagattako nti abasajja bafeeyo okwemwa baleme kusakaatira mu nkwawa n'emmanga eri.

EZ'AKAMEEZA ZONGERA LAAVU

Amaka ganyuma nnyo nga ssente ezigayimirizaawo weeziri. Bagamba nti bawagira abasajja baabwe okugenda okukola so nga ne bwe kuba kubakwatizaako mu bizinensi oba okubassaamu kapito bakyaniriza amaka ne gaggumira mu bya ssente.

Abakyala abatakola ne kwegattibwako obutalekerwa za kameeza bagamba nti bakisangamu obuzibu obuyinza okubawaliriza okuyiiya ng'abakazi.

Abakazi basaba abasajja baabwe ensimbi zibeerewo mu 2019 nabo babasse laavu kibawonye n'okunayiza.

OBUTAMANSA NGOYE

ABAMANSA engoye n'okutabulatabula engeri ebintu gye birina okukolebwa. Abakyala bagamba nti bajja kunyumirwa 2019 ng'abasajja bafaayo okuteeka engoye ze beeyambudde mu bifo ebituufu kuba beemulugunya nti ng'oggyeeko okuzimansa buli we basanze waliwo n'abazitabika mu nnyonjo.

Mu kisenge mutera okubeeramu ebisero oba amabensani mwe bakuηηaanyiriza engoye nga mwe zeetaaga okuteekebwa.

MWENENYE ABAKOZI B'AWAKA

Abakazi beemulugunya nti bwe baleeta abakozi ab'awaka, bwe bamalawo ekiseera ne batandika okunyiriramu, abasajja nga batandika okubatokota ekivaamu kwegatta.

Abakyala bagamba nti kino kibaweebuula eri abakozi ne batandika okubayisaamu amaaso nga bayita kuli nga bagamba nti ‘ndaba omusajja amwewaanya naye amumanyi endya n'ensula'.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...