TOP

Nagujja wamponya ebigambo by'abantu

Added 4th January 2019

OMWAKA guno nguyingidde eky’ebbeeyi kyange kiri ttu, era kinyambye okuswaza abaali bansekerera nti sirina waaka. Nze Jimmy Ssekabiito 24, mbeera ku Mwenda Bulaga ku lw’e Mityana.

Eby'omukwano nnali sibiriiko olw'embeera zange n'endabika yange nga bangi bagamba nti nakula ng'abakyala era sirina kye nsobola kukola.

Bwe nawulira ebyo, nansalawo okufuna omukyala mu 2018 nga gutandika era ab'e Bulaga olwabiwulira ne batandika okumusekerera nti omusajja gw'afunye yafa amaka wabula ye nga tabiwulira kuba yali amanyi ekituufu.

Nga wayise ebbanga, Nagujja yafuna olubuto olwo abaali banjogerera ebigambo ne bibakalira ku mimwa.

Kino kyampaliriza n'okweyanjula mu bazadde be n'okumukuba empeta.

Okumanya aboogezi tebakoowa, n'emikolo gyange banjogerera nti ndi mwana muto naye mpasa ntya naye ebigambo byabwe byanyongera amaanyi era omwaka oguwedde nga guggwaako, twakola omukolo gw'okwanjula nga December 15, ate enkeera nga December 16 ne mukuba embaga.

Nange okubalumiza ddala nafuna bandi n'entambuza okwetooloola ekyalo buli muntu n'atulaba n'ekyebbeyi kyange eno nga bwe tubawuubira ku mikono.

Ekirungi mukyala wange alina empisa, anjagala ate nange mmwagala era ampa ekitiibwa.

Ampaana nti nnina waaka era kye kisinga okunzizaamu amaanyi ng'omusajja. Kati twesunga kuzaala mwana waffe asooka era tusaba Katonda eby'okuzaala bitambule bulungi.

Sikyanyoomebwa mu bantu kuba n'abaali banjogerera kati bampita ssebo n'abamu okuneebuuzaako.

Mukyala wange musuubiza obutamukyawa n'obutamwongerako mulala okutuusa okufa bwe kulitwawukanya.

Mwagala nnyo era musuubiza okumuwa omuhabati ogusinga mu nsi era naye yansuubiza okunzisa omuhabati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo