TOP

Nneenyooma mu sayizi

Added 20th February 2019

Obusajja bwange butono, nsobola okubwongerako?

Ndi musajja naye nneenyooma mu sayizi y'obusajja bwange. Nsobola okubwongerako?

Mwana wange weenyooma mu sayizi? Lwaki weenyooma? Olina sayizi z'olabyeko nga nnene okukusinga? Era nneebuuza sayizi zino ozirabye otya? Kubanga oyinza okuba nga sayizi gy'olaba y'eyo nga tonnaba kufuna bwagazi.

Naye ate nga bw'ofuna obwagazi sayizi y'eyo ddala. N'ekirala abasajja bangi ennaku zino balaba ebifaananyi eby'obuseegu ne balowooza nti ddala sayizi entuufu y'eyo gye balaba.

Ne batamanya nti sayizi ezo ze balaba balina engeri gye bazifuula nga nnene mu kifaananyi naye nga mu butuufu si nnene. N'ekirala mwana wange sayizi si kye kisinga obukulu, wabula engeri gy'osobola okukozesa sayizi eyo.

Bw'obeera ne sayizi entono abakyala baagala kuwulira kale olina okugezaako okulaba nga weewala obutabeera munda.

Ate kigambo kukyusa sayizi simanyi lwaki mwakiremerako kubanga wano ewaffe mu Uganda ‘plastic surgery' ow'obusajja taliiwo. Kati abagamba nti bakyusa sayizi mu butuufu balimba okuggyako nga bakutwala bweru wa Uganda.

N'ekirala ssinga ebirowoozo bya sayizi  bikumalamu, weesanga nga n'okwegatta kukulema anti mu kifo ky'okwegatta n'amaanyi gabula ng'ebirowoozo biri ku sayizi.

Okwongerako osobola naye ng'ogenze bweru wa Uganda naye si wano. Naye weebuuze ddala sayizi ntono? Oba okirowooza bulowooza?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabalabirizi Kazimba ng’abuulira mu kusaba eggulo.

Abaawanguddwa temwekwasa ba...

SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye baminisita ba Pulezidenti Museveni abaawanguddwa...

Ababaka ba NUP abaalondeddwa; Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North (ku kkono), Seggona owa Busiro East,Mathias Mpuuga ne Abdala Kiwanuka (ku ddyo) bwe baabadde bagenda okwogerako ne bannamawulire.

Aba NUP bafunye obujulizi b...

ABAMU ku bakulembeze ba NUP n'ababaka abaawangudde akalulu bategeezezza nga bwe balina obujulizi mu bitundu byabwe...

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...