TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nnabonaabonera e Sudan ne nneevuma ensi

Nnabonaabonera e Sudan ne nneevuma ensi

Added 21st February 2019

NZE Loritah Namaganda nnina emyaka 27, mbeera Kireka mu Kamuli Zooni. Twasisinkana na baze mu 2016 nga ηηenze okukola e Sudan. Nnali nkola mu bbaala ate ng’omusajja ono ye makanika mu galagi emu e Sudan.

NZE Loritah Namaganda nnina emyaka 27, mbeera Kireka mu Kamuli Zooni. Twasisinkana na baze mu 2016 nga ηηenze okukola e Sudan. Nnali nkola mu bbaala ate ng'omusajja ono ye makanika mu galagi emu e Sudan.

Yali omu ku bakasitoma be naweerezanga omwenge, awo we yatandikira okunkwana.

Kyantwalira ebbanga okumukkiriza engeri gye nali mu nsi eteri yange ate nga ηηenze kukola nga n'embeera ya Uganda eyampaliriza okugenda e Sudan nga mpulira saagala kugiddamu oba okuva ku mulamwa.

Wabula oluvannyuma lw'ebbanga ng'annemeddeko n'okunsuubiza nti bye nnoonya okufuna byonna agenda kubimpa, natuusa ekiseera ne nzikiriza era ne tutandika omukwano gwaffe.

Nga wayise ekiseera, baze yansaba nve mu nnyumba mwe nnali mpangisa n'ansaba mbeera naye era nga gye nva okugenda okukola. Mu mukwano omungi gwe twalimu, nafuna olubuto bwentyo ne ntegeeza baze.

Wano we yandagira nti eby'okuzaala si byaliko. Waliwo lwe yaηηamba nti bwe nfuna olubuto, nga nnoonya gye ndaga kuba ye yali ayagala nze ng'omuntu nga tayagala byakumuzaalira.

Nalowooza nti osanga yali asaaga. Kale olwajjukira bino wamma amagezi ne ganneesiba.

Embeera yayongera okukaluba kuba ne ku mulimu baagaana okukozesa omukazi ali olubuto kyokka nga n'akayumba mwe yanzigya okuntwala ewuwe baakafuniramu dda omuntu omulala.

Ennaku yannuma nga sirina kyakulya wadde ssente ezinziza e Uganda. Nadda ku kkubo era ebisigadde ne mbikwasa Katonda kuba nnali sirina kyakukola nga n'eggwanga lye ndimu si lyange.

Ennaku yannuma katono nfe wabula nalowooza ne nzirayo ew'omusajja ne musaba ampe ssente nzire ewaffe nga ndowooza essuubi linanziramu nga ntuuse ewaffe.

Ekyannyamba, yakkiriza n'ampa ssente ne nkomawo awaka n'olubuto lwange. Mukama yannyamba omwana ne mmuzaala era mulamu bulungi newankubadde ng'embeera gye tulimu teyeeyagaza.

Nsaba abazirakisa abasobola okunnyamba nfune omulimu nfunemu ssente nsobole okulabirira omwana wange kuba tetulina wadde aw'okusula nga n'ekyokulya tetulina.

Ndi ku ssimu 0706860357.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...